
Poliisi mu disitulikiti ye Lwengo eri ku muyiggo gw’omukazi asazeeko bba engalo ng’amulanga bwenzi.
Flavia Namale , omutuuze ku kyalo Kawuniro y’ayiggibwa bw’akakkanye ku bba Paul Mugerwa n’amutemako engalo 3.
Namale yasabye bba amuyambe amunalizeeko muwala waabwe kyeyagaanye n’ayingira mu nyumba n’agyayo ejjambiya n’amutemako engalo.
Okusinziira ku baliraanwa Namale abadde nga anenya bba okulagajalira amaka ge n’adda mu bwenzi.
Eddie Magembe nga ono ye ssentebe w’okukyalo Kawuniro agamba bawulidde nduulu na miranga bya Mugerwa nebadduka okumutaasa wabula batuuse Namale adduse.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi ategezezza nga bwebakyayigga Namale nga ye Mugerwa addusiddwa mu ddwaliro.