
Minisita w’ebyokwerinda Dr. Crispus Kiyonga alumirizza eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi okubuzabuza bannayuganda.
Mu kusonda ensimbi ku ekeleziya ye Namwendya mu disitulikiti ye Tororo , Dr. Kiyonga yategezezza nga Mbabazi bw’atalina lukusa kuvumirira gavumenti gy’akoledde ebbanga eddene.
Kiyonga yasabye abatuuze obutakolagana na bantu nga Mbabazi b’agamba nti bananfuusi.
Kiyonga ayongedde okuta akaka nga Mbaabzi bwaali omu ku bakulembeze abenonyeza ebyabwe nga y’emu ku nsonga lwaki yagobwa ne ku bwa ssabaminisita.
Mbabazi wiiki ewedde yalangirira nga bw’agenda okwesimbawo nga atalina kibiina ng’agamba akamyufu k’ekibiina kya NRM kalimu ebirumira bingi.