
Eyali minsita w’ebyentambula n’emirimu nga kati talina mulimu gwankalakalira Abraham Byandaala ayimbuddwa.
Omulamuzi wa kkooti ewozesa abakenuzi Julius Borore alagidde Byandala nebanne abalala mukaaga okusasula obukadde kkumi buli omu n’okuwayo paasipooti zaabwe okusobola okweyimirirwa.
Ye omusuubuzi Apollo Senkeeto ebibye bikyali bizibu anti kkooti emulagide aleete ekyapa ky’ettaka ekibalirirwamu obukadde 500 okusobola okweyimirirwa kubanga y’agulwako emisango mingi.
Omukaaga bano beeyimiriddwa omubaka James Kakooza, Eng Joseph Kabanda ne Dr Anthony Mbonye
Bano balagiddwa okuddamu okweyanjula mu kkooti nga 11th August 2015.
Byandaala avunaanibwa wamu n’eyali ekulira ekitongole kya UNRA Ssebbugga Kimeze , eyali atwala eby’ensimbu Joel Ssemugooma , omusuubuuzi Apollo Ssenkeeto ne Isaac Mugote omukozi mu banka.