
Ab’ekibiina kya NRM nabo tebatudde butuuzi.
Bano batongozza ekibinja ky’abagenda okusaggula akalulu mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
Ekibinja kino kikulembeddwamu amyuka ssentebe w’ekibiina kino Alhajji Moses Kigongo nga kati wakugenda nga asaggulira pulezidenti Museveni akalulu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Lumumba Kasule ategezezza nga ekibinja ky’ebyamawulire bwekigenda okukulemberwamu omubaka w’ensonga za East Africa Sitenda Ssebalu amyukibwe Nyombi Thembo ne Sulaiman Madaada abalina okulaba nga amawulire agafa ku kampeyini z’abantu baabwe gatuuka bulungi ku bannayuganda.
Mu balala abalondeddwa okunonyeza Museveni akalulu kuliko omugagga Richard Kirumira
Lumumba agamba bano batandise dda emirimu gyabwe.
Mungeri yeemu abawi b’amagezi ku kakiiko k’ekibiina kya NRM akakulu balondeddwa nga bano kuliko Francis Mwebesa, John Nasasira, Ben Ogwangcho, Mondo Kagonyera n’abalala.