
Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu kibuga Kampala n’ebitundu ebiliranyewo oluvanyuma lwa munna FDC Dr Kiiza Besigye okuwera okulumba akakiiko k’ebyokulonda okulaga obutali bumativu bwe ku byavudde mu kulonda.
W’ewulirira bino nga abeserikale ba poliisi bongedde okwebulungula ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda sso nga bbo abaamagye ewakisekka basazeeko.
Wabula amaduuka agasinga maggule nga era abantu bakola bulungi emirimu gyabwe.