Skip to content Skip to footer

Byandala omusango gumuyinza

 

Byandala 2Eyali minisita w’ebyenguudo  Eng Abraham Byandala  kitegerekese nga bw’ayagala bw’alina ekigendererwa ky’okukiriza omusango ogwekuusa ku kubulankana kw’obuwumbi 24  mu kuzimba oluguudo lwe Nyanga Katosi e Mukono.

 

Munnamateeka wa Byandala Nsubuga Mubiru y’ategezezza omulamuzi wa kkooti ewozesa abakenuzi Lawrence Gidudu ku nteekateeka eno.

 

Wabula enteeseganya wakati wa Kaliisoliiso wa gavumenti n’omuvunaanwa omulala Joe Ssemugooma eyali akulira eby’ensimbi tezinavaamu kalungi konna.

 

Kati omulamuzi awadde kaliisoliiso wa gavumenti amagezi okuteekawo embeera abaagala okuteesa naye bakikole mu mazima awatali kutya.

 

Bano kati balagiddwa okudda mu kkooti nga 29 April babuulire kkooti ebinaba bivudde mu nteeseganya wakati w’abavunaanwa ne kaliisoliiso wa gavumenti.

Leave a comment

0.0/5