
Waliwo ekibinja kyabakulisitu abali eyo mu 200 abasazewo okukuba ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali mu kkooti nga bamulumiriza okulwawo okulonda omulabirizi w’obulabirizi bwa west Ankole.
Bano nga bakulembeddwamu Zeddy Byakyaro ne Phillip Murwani bagamba nti olukiiko lw’abalabirizi lwatuula nebalonda abalabirizi ba Bunyoro Kitara ne West Buganda wabula tebalonda wa West Ankole ate nebataweebwa kunyonyolwa kwonna.
Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Kangaho and Co. Advocates, abakulisitu bano baawandikidde dda ssabalabirizi nga bamulaga ekigendererwa kyabwe ekyokumuwawabira bbo kyebayise okubanyigiriza.
Kati bano ssabalabirizi bamuwadde ennaku 14 zokka nga alonze omulabirizi wa Ankole oba sikyo baddemu kusisinkana mu kkooti.