Bya Damali Mukaye
Akabondo kábabaka abóludda oluwabula gavumenti mu Parliament kasizza kimu nga nkuyege okukozesa amaloboozi gabwe mu Parliament okuwaliriza gavumenti okuyimbula Dr Kiiza Besigye okuva mu komera gyakuumirwa e Luzira.
Bano abasoose okwevumba akafubo kebatakkirizzamu bannamawulire ku Parliament era baweze obutakoma ku kubanja Dr Besigye yekka wabula nábantu abalala abakwatibwa olwénsonga zébyóbufuzi nga tebarina musango.
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Parliament Mr. Joel Ssenyonyi, atubuulidde nti bagenda kukozesa ebifo byabwe mu parliament saako nókukunga abantu okuteeka ku gavumenti akazito okuyimbula abantu abo.
Bino webigwiriddewo nga olunaku lwa nga 17 February, 2025, waliwo ebibiina byóbufuzi ebyagasse amaanyi ku nsonga yemu nebateekawo nénsale sale wa saawa 48 nga Dr. Besigye ayimbuddwa ekitali ekyo bakubaako byebakola ebiteeka ku gavumenti akazito okuva mu nsonda ezénjawulo mu gwanga.
End