Skip to content Skip to footer

Abalina omusujja mu lubuto beyongedde

Typhoid

Abantu abateberezebwa okubeera n’omusujja  gwomubyenda bakyeyiwa mu ddwaliro lyomu Kisenyi okufuna obujanjabi.

Enkambi eyateereddwawo minisitule minisitule y’eby’obulamu yonna ekibyeko abalwadde abalinda okujanjabibwa.

Omusasi waffe Shamim Nateebwa atutegezezza nga abaswo abakola ku balwadde bano bwebatayatukirizza muwendo gw’abalwadde bebakafuna.

Abavuzi ba taxi nabo gyebakedde okulambula ku banaabwe abali ku ndiri nga era waliwo ebigambibwa nti waliwo omuntu omulala eyafudde okuva mu paaka enkadde.

Nga bakulembeddwamu omukulembeze waabwe Mustapha Mayambala, badereeva bano bagamba nti banaabwe 3 bebakafa ekirwadde kino nga n’abalala nga 50 bakayajanjabibwa.

Mayambala wano w’asabidde minisitule y’eby’obulamu okuteekawo ekifo ekirala ewanajanjabibwa abantu kubanga abalwadde beyongera buli lunaku.

Minisitule y’eby’obulamu wiiki ewedde y’alangirira nga ekirwadde kino bwekyabalukawo wano mu Kampala, Mukono ne Wakiso.

Leave a comment

0.0/5