Skip to content Skip to footer

Abawakanya ekkomo ku myaka bayitiddwa mu kooti

Bya Ruth Anderah

Abantu bonna abaloopa emisango mu kooti nga bawakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bayitiddwa okulabikako mu kooti eya ssemateeka mu maaso gomumyuka wa ssbalamuzi Alfonse Owiny -Dollo ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.

Ebiwandiiko ebiyita abantu bano bifulumiziddwa omumyuka wa ssabawandiisi wa kooti Esther Nambayo nga biwerzeddwa aba Lukwago and company advocates, Uganda law society ne Hassan Male Mabirizi.

Bano betagibwa omusango gwabwe okugugatta wamu, gwulirwe abalamuzi ba kooti 5.

Kino kyadirira banamateeka okuyita mu kibiina Uganda Law society, ababaka bavuganya gavumenti nga bayise mu Lukwago and company ne Male Mabirizi   okuddukira mu kooti eno, nga bawakanya ekyokutigatiga mu ssemateeka okujjawo ekkomo lye myaka 75 egyo omukulembeze we gwanga gyeyalina okukomako.

Abawaabi bagamba nti abantu babulijjo balekebwa bbali palamenti okutuuka okusalwo bweti.

 

Leave a comment

0.0/5