
Kizuuliddwa nga ssemazinga wa Africa bwakyaleebya ku bantu abafa endwadde eziva ku mmere wamu n’omuwendo gw’abantu bangi abafa mu nsi yonna.
Bino bifulumidde mu alipoota y’ekitongole ky’ebyobulamu munsi yonna ekivunanyizibwa ku kutereka obulungi emmere.
Abantu 600 mu nsi yonna bebafa buli mwaka olw’endwadde eziva ku mmere nga kubano obukadde 91 bava mu Africa.
Uganda efiirwa abantu 137,000 buli mwaka ku nsonga yeemu.
Okusinziira ku w’ebyekikugu mu kitongole kino Mohammed Sheriff, gavumenti za Africa nyingi tezifuddeyo nyo ku byakukuuma mmere ebisinga nebabilekera eby’obwanakyewa.
Sheriff agamba gavumenti zino zisaanye okulaba nga abalima emmere, ssaako n’abagitambuza bagikwata bulungi okulaba nga emmere eno tegwako buwuka buleeta ndwadde.
Bino abyogeredde mu lukungaana lw’amawanga ga East Africa olugendereddwamu okukuuma bulungi emmere.
Ezimu ku ndwadde eziva ku mmere enkyafu kuliko Cholera ne Ebola.