Skip to content Skip to footer

Bannadiini balabudde ku bululu

File Photo: Mufti Mubaje
File Photo: Mufti Mubaje

Akakiiko akataba amadiini agatali gamu aka inter religious council kasabye abantu okukozesa eddembe lyaabwe eribaweebwa ssemateeka nga balonda bebaagala kyokka mu birembe.

Mu kiwandiiko ky’awamu ekisomeddwa mufti wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje,bannaddiini bagambye nti bannansi balina okussa ekitiibwa mu bululu ate era bamanye nti ssi y’enkomerero y’ensi.

Asabye abanawangulwa basse ekitiibwa mu bivudde mu kulonda basimbe emabega w’abo abawangudde

Basabye akakiiko akalondesa nabo okubeera abalambulukufu nga bakola egyaabwe okwewala okuleetawo akavuyo.

Leave a comment

0.0/5