Skip to content Skip to footer

Okugaba obupappula kwongezeddwaayo

File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda

Akakiiko akalondesa kongezezzaayo obudde bw’okugabira abantu obupappula okuli ebifo gyebalondera

Okugaba obupapula buno kwaali kwakukoma ku ssande kyokka nga nakati kugenda mu maaso.

Omwogezi w’akakiiko k’eby’okulonda Jotham Taremwa agambye nti obupappula buno bwakugabwa okutuuka ku ssaawa envanyuma.

Asabye abatannaba kubufuna okusigala nga bakikola.

Leave a comment

0.0/5