
Waliwo aboluganda bebattira muwala waabwe abalumbye poliisi ye Mukono nga bagala okufuna obwenkanya ku nsonga eno.
Maxious Nantaba eyali atemera mu myaka 23 yakubibwa bbaawe Nsereko Seemu mu Gulu e Mukono nafa.
Bino byaliwo mu mwezi ogwokusatu nga Nsereko yadduka era akyaliira ku nsiko.
Aboluganda abakulembeddwamu maama womugenzi Margret Nannyonjo balumbye poliisi nebategeeza nti okuva mu mwezi gwokusatu tewali kikoleddwa ku musango guno, fayilo ebadde yakwekebwa n’omuntu omu ku bateberezebwa eyali akwatiddwa bamuyimbula.
Balumirizza poliisi okubasaba ssente okuteeka ensonga zino mu mawulire naye tebakikola atenga bazirya.
Bano era bemulugunya neku muzzukulu waabwe owomwaka ogumu omugenzi gweyaleka nti yabuzibwawo tebamumanyiiko mayitire.