Eyakwatitra ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr.Kizza Besigye alabudde gavumenti ku byasaliddwawo e Kyankwanzi mu lusirika lwa NRM ku nsonga zenongosereza ku mateeka g’ettaka.
Okulabula kuno Besigye akukoledde mu makage e Kasangati gyayogereddeko eri bannamawulire.
Besigye alabudde nti eggwanga lyolekedde akabi singa gavumenti etuukiriza ebyasaliddwawo baminisita okukola enongosereza nga gavumenti ettaka lyeyagala erifuna.
Besigye era ategezezza nti yadde nga okuwandiisa ettaka kilungi, wabula yekengera engeri gyekikolebwamu.