Omusango gw’okukusa enjaga oguvunaanibwa eyali manager wa Irene Namubiri Hakim Tumwesigye gwngezeddwaayo okutuusa nga lumu ogw’ekkumi.
Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza ng’okunonyereza mu musango guno bwekukyagenda mu maaso.
Hakim nga musuubuzi e Japan kigambibwa okuba nga yeeyatikka Irene Namubiru enjaga nga tamanyi
Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa nga 1 ne 5 omwezi ogw’okutaano, Hakim yalagira Namubiru eyali agenda e Japan okumutwalira keesi egambibwa okuba nga yalimu enjaga eweza kilo 2
Enjaga eno yassibwa mu kifananyikya Museveni ne Kabaka
Hakim alabiseeko mu maaso ga kooti ye Makindye ekulirwa Esther nambayo ayongezezzaayo omusango okutuusa mu mwezi gw’ekkumi.