Skip to content Skip to footer

Omukulembeze wa Sudan waakutuuka mu uganda leero.

Bya Benjamin Jumbe.

Omukulembeze we gwanga lya Sudan Omar al-Bashir  leero lwatuuka mu gwanga kubugenyi obw’enaku ebbiri.

Kinajukirwa nti omukulu ono yakoma okukyala mu Uganda mu mwaka gwa May 2016, bweyali azze okwetaba ku mukolo ogw’okulayiza omukulembeze we gwanga.

Ekiwandiiko kyetulabyeko okuva mu office ya president kiraze nga ono bwagenda okubaako byawayaamu n’emukulu munne owa uganda nga kuno kugenda kubaako eby’obusubuzi, eby’okwerinda, eby’obulimi n’ebirara.

Omukulu ono mukujja agenda kuwerekerwako  ba minister eb’enjawulo okuva mu Sudan, abakungu abalala kko n’ebamusiga nsimbi okuva mu Sudan eyo.

 

Leave a comment

0.0/5