
Omupoliisi agambibwa okufuna sitatimenti yoomu ku basajja abavunaanibwa ogw’obutujju olwaleero naye awadde obujulizi.
Moses Kato ng’akolera mu kiwayi ekinonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli yoomu ku baawandiika sitatimenti y’omu ku bagambibwa okutega bbomu ze Kyaddondo ne Kabalagala.
Munnansi wa Kenya ono Mohammed Ali yakkiriza okubeera memba wa Alshabab.
Kato agambye nti Mohammed Ali yeeyamusaba amubuulire byeyamugamba nti mutujju.
Mohammed Ali yategeeza omusirikale ono ku ngeri gyeyatambuzaamu bbomu okutuuka mu Uganda okutuuka okuddukira mu Tanzania
Abavunaanibwa bano 13 balina emisango gy’ettemu, egy’okugezaako okutta kko n’egy’obutujju
Omusango guno guli mu maaso g’omulamuzi The
Alfonse Owiny Dollo.