
Omubaka wa disitulikiti ye Kasese Winnie Kiiza akwasiddwa ofiisi y’akulira abavuganya gavumenti mu butongole okudda mu kifo kya Wafula Ogutu.
Kiizakati yweokuna okutuula mu ofiisi eno era omukyala asookedde ddala bukyanga Uganda yefuga.
Amangu ddala nga yakalayira, Kiiza asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu bitongole byayo wamu n’okukomya okutuntuza ab’oludda oluvuganya gavumenti.
Ono era avumiridde engeri eyamanyi abavuganya gavumenti gyebakwatibwamu era n’saba ne Dr Kiiza Besigye aweebwe obwenkanya ku musango ogumuvunanibwa.