Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye abakulembeze b’obuyisiramu okugenda mu maaso nekawefube w’okugatta abasiramu alekeddwa supreme Mufti sheikh Zubair Kayongo.
Bino pulezidenti abyogeredde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi wali ku muzikiti e Kibuli.
Pulezidenti ategezezza nga omuganzi bw’abadde omwesimbu enyo nadala munteseganya ezibadde zigenda mu maaso kale ngabasirimu abalala balina okumulabirako.
Museveni era agambye nti okunonyereza kwebaze okulaga nti…
Omwana ow’emyaka 4 afiiridde mu kabenje akagudde wali ku luguudo lw’e Masaka oluvanyuma lw’ekimotoka ki lukululana okusaabala amaka g’omutuuze.
Ekimotoka kino namba UAP 545S kiremeredde omugoba waakyo nekisaabala amaka ga Christine Natumbwe nekitta omuzzukulu Leticia Namiiro, ate abantu abalala 9 bawereddwa ebitanda ng’embeera mbi nyo.
Aduumira poliisi y’ebidukka mu disitulikiti ye Mpigi Michael Ensinekweri agamba omugoba w’ekimotoka…
Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura nate azzeemu okukola enkyukakyuka mu basirikale ba poliisi.
Abadde omuduumizi w’ebikwekweto mu Kampala n’emirirwaano Afande Sam Omala atwaliddwa mu bitundu bwe Busoga ng’omumyuka w’akulira poliisi mu kitundu kino.
Omala asikiziddwa Superintendent of Police Rashid Agero.
Amyuka kamisona wa poliisi Fadhil Kaali kati yakulira poliisi ye bikwekweto ng'agenda kumyukibwa Robert Ojandu.
Omwogezi…
Abaana abali mu 439 beebafa buli mwaka mu distulikiti ye Nebbi.
Bino bifulumiziddwa ekiwayi ekikola ku byobulamu mu disitulikiti nga kikulemberwa Dr Charles Kissa
Dr Kissa agambye nti abaana abasinga bafiira mu sanya nga n’abamu baba tebannatuuka
Kisa agamba nti era abakyala abasinga okuffirwa abaana baba baana abafuna embuto nga bato ate abalala baba bajjamu mbuto
Ono asabye gavumenti…
Sheikh Zubair Kayongo wakuziikibwa olunaku olw’enkya Buswabulongo, Lwamatta mu distulikiti ye Kiboga
Wabula wajja kubaawo okusaalira omugenzi e Kibuli ku muzikiti ku ssaawa bbiri.
Kayongo afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’okuweebwa ekitanda mu Tanzania ng’atawanyizibwa ekirwadde kya puleesa ne sukaali
Bbo abasiramu bakyagenda mu maaso n’okukungubagira omugenzi.
Olukiiko lwa ba minisita olutudde olwaleero lusazeewo nti nsalessale ku buveera essigalewo.
Kino kiddiridde aba NEMA okulemera ku ky’okuwera obuveera yadde ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda yabasabye bawe aba ssemaduuka obudde
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa offisi ya ssabaminista kiraze nti aba NEMA basigale nga bakola emirimu nga bwebateese n’abakola obuveera buno
Bannamakolero basabiddwa okulekera awo okukola obuveera n’okubangula abantu ku kabi…
Abafumbo abawukana n’abagalwa baabwe bali mu bulabe bw’okulwaala omutima
Bino bizuuliddwa abanonyereza okuva mu America.
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu abasoba mu mutwalo omulamba n’ekitundu
Kyokka kyeyolese nti abantu bano bwebaddamu okufumbirwa batereera
Ekibiina kati ekikola ku by’obutima mu bungereza kigamba nti kyetaaga okwongera okukakasa bino n’okulaba engeri gyebayinza okuyambamu abantu.
Gavumenti egamba nti tewali munnayuganda yakoseddwa mu mivuyo egigenda mu maaso mu ggwanga lya South Africa.
Omubaka wa Uganda mu South Africa Julius Peter Moto agambye nti embeera ekyaali ya bunkenke era nga baayisizza dda ekiwandiiko ekirabula bannayuganda okubeera obulindaala
Abagwiira abaddugavu bataano beebakattibwa mu kibuga Durban nga babalanga kwezza mirimu gya bannansi.
Ggo amaduuka g’aba somali gamenyeddwa…
Abantu 9 bafudde oluvanyuma lw’eryato kwebabadde basaabalirira okwebika mu Nyanja Albert.
Mu bafudde kubaddeko n’omwana ow’omwaka ogumu nekitundu.
Abasaabaze okusinga babadde basuubuzi nga babadde bava Obira mu katale ke Purongo mu disitulikiti ye Nebbi.
Omukubiriza w’olukiiko lw’egombolola ye Porongo Samson Lukwiya ategezezza nga abantu 18 bwebabadde ku lyato lino nga abasigadde bataasiddwa.
Lukwiya agamba emirambo 2 gyegibadde gyakanyululwa nga…
Supreme Mufti Shk Zubair Kayongo afudde.
Supreme Mufti afiiridde ku myaka 74 mu ddwaliro lya Aga khan mu kibuga Darasalam mu ggwanga lya Tanzania.
Omwogezi w’omuzikiti gwe kibuli sheikh Hassan Kirya ategezezza nga bwebali mu lukiiko okulaba engeri gyebazzamu omulambo gw’omugenzi.
Ye Imam wa palamenti era omubaka wa Kawempe North Hajj Latiff Ssebaggala ategezezza nga omugenzi bwakoleredde enyo…