Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abasawo e Butabika tebamala

Akulira eddwaliro ly’abalwadde b’emitwe erye Butabika Dr David Basangwa alaajanidde  gavumenti etendekewo abasawo b’emitwe abalala olw’abantu abeyongera okutabuka emitwe sso nga abasawo batono ddala.. Eddwaliro lino lirina abasawo 10 bokka nga ate 4 bali ku misomo sso nga abalwadde basoba mu 700. Basangwa y’abyogedde aweebwa ebikozesebwa by’eddwaliro lino ebibalirirwamu obukadde nga 5.

Read More

Gavumenti enaakyusa ebisomesebwa

Minisitule y’ebyenjigiriza yetaaga obuwumbi nga 100 okuddamu okwetegereza ensengeka y’ebirina okusomesebwa mu pulayimale omwaka 2017 wegunatuukira. Ensengeka eno empya erimu amassomo g’emikono, bizineesi n’ebirala. Amyuka kamissiona w’ebyenjigiriza ebyawaggulu Kule Baritazale, ensengeka eno yakoleddwa okulaba nga abayizi bakola nyo ebintu by’emikono okubasobozesa okutendekebwa mu mirimu gyemitwe. Wabula agamba nti enteekateeka eno okuvaamu ebibala, gavumenti esaanye okwanguya okufulumya ensimbi.

Read More

Obuveera bw’oluwewere bulina okuvaawo- NEMA

Abakyakozesa obuveera bubakeeredde. Ab’ekitongole ekirwanirira obutonde bwensi ekya NEMA olwaleero lwebatandika okuteeka mu nkola etteeka ly’okuwera obuveera bwonna obw'oluwewere. Wabula kino kijidde mu kiseera nga akulira ekibiina kyabannamakolero Ssebagala Kigozi kyajje ategeeze nga etteeka ku kuwera obuvera buno bwelyayimiriziddwa oluvanyuma lwokusisinkanamu ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda. Wbula ye akulira  NEMA Dr. Tom Okurut akalambidde nti olwaleero lwebatandika okukangavvula abamenya…

Read More

Teri kuwera buveera

Enteekateeka y’ekitongole ekikola ku butonde bwensi okuwera okukozesa akaveera erabika nga egudde butaka, oluvanyuma lwa gavumenti okulangirira nti buli kimu kiyimirizibwe. Bino okutuuka wano, kiddiridde bannabyabusuubuzi okusisinkanamu  ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda nebakkaanya nti kino sikyakumala gateekebwa mu nkola nga tebemaze kwetegeke Akulira ekibiina ekitaba bannamakolero ekya Uganda Manufacturers’ Association Ssebaggala Kigozi  atutegeezezza nti buli kimu kiyimiriziddwa okubasobozesa…

Read More

Maziga mu kusabira Nankabirwa- omusawo anyonyodde

Gabadde maziga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Rosemary Nankabirwa ng’ono yali musomi wa mawulire ku NTV. Omusawo eyasooka okulongoosa Nankabirwa ategeezezza abakungubazi nga bwebaakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe kyokka nga kyaali kikereezi Ono agambye nti Nankabirwa bagenda okumutuusa e Mulago nga kokoolo we akuze era ng’agambye nti lweyasooka okutunula ku mugenzi yalabirawo nti baali basiba bikutuka kyokka…

Read More

Babiri babbidde

Abantu 2 okuli n’omuyizi wa yunivasite ye Kumi abadde asoma mu mwaka gwe ogwokubiri  bagudde mu Nyanja ya Bisina ne bafa oluvanyuma lw’akaato kwebabadde basaabalirira okwebika mu mazzi. Omuyizi mutuuze ku kyalo  Kokong  mu disitulikiti ye Ngora nga era y’abadde azzeeko waabwe ku wikendi. Balubbira ku kyalo bamaze kumpi essaawa 24 nga banonya emirambo okutuuse lwebajizudde nga…

Read More

Bantariza aluyiseeko

Eyali akulira ettendekero ly’ebyobufuzi erya Kyankwanzi Col. Shaban  Bantariza asambira mabega nga jjanzi . Kiddiridde okwejerezebwa emisango gy’okwezza Tulakita ebadde egambibwa nti yaweebwawo minisitule y’ebyensimbi wabula Bantariza n’agyezza nga agamba nti yagigula ku bukadde 67 . Wabula abantu 7 abatuula ku kakiiko ka kkooti y’amagye nga bakulembeddwamu ssentebe waako Maj Gen Levi Karuhanga akizudde nti tulakita eno…

Read More

Sejusa akyaddeko ku DP

Eyali akulira ekitongole ekikessi Gen David Sejusa akyaddeko ku kitebe ky’ekibiina kya DP wali ku kizimbe kya City House. Sejusa yevumbye akafubo n’abamu ku b’akakiiko k’ekibiina abokuntikko nga bakulembeddwamu ssabawandiisi w’ekibiina  Mathias Nsubuga. Waliwo atayagadde kumwatukiriza manya atutegezezza nga ab’akakakiiko akokuntikko ak’ekibiina bwebateesa ku bugenyi bwa ssejusa era nebakkiriziganya abakyalire. Bukyanga ava mu buwanganguse, sejusa azze akolokota omukulembeze…

Read More

Nankabirwa aziikibwa lwakusatu- ssente ezasolozeddwa za kokoolo

Ab’enganda z’omugenzi Rose Nankabirwa bagamba nti yadde omuntu waabwe teyalamye naye obwagaazi abantu bwebamulaze bwongedde okubagumya Bano basiimye abo bonna abawaddeyo okutaasa obulamu bw’omuntu waabwe mu kaseera k’okugezesebwa kebalimu Ab’enganda nga bakulembeddwaamu Ronald Bisereko agamba nti basanyufu nti bagezezzaako buli kimu kyokka ng mukama yageze . Yye muganda w’omugenzi Catherine Naiga Turyagenda omugenzi amwogeddeko ng’omweruufu era abadde akola…

Read More

Ab’ebibiina besunga kamyufu

Ab’ekibiina kya NRM bafumuluzza enteekateeka zaabwe ez’okulonda abanakwata bednera y’ekibiina ku mitendera egitali zimu. Ssabawandiisi w’ekibiina kino Justine Lumumba agamba nti bagenda kutandika okuwandiisa bannakibiina okuva nga 24 omwezi guno era bamalirize nga 16th omwezi gw’okutaano omwaka 2015. Nga bano bakuyita mu lukalala lw’abalonzi okuva nga 18 omwezi ogujja era nga kino kyakuggwa nga 12 omwezi gw’omusanvu. Ekibiina…

Read More