Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga olwaleero ategeezezza obuganda ng’enteekateeka z’amazaalibwa ga Ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto bweziwedde.
Owek. Mayiga agambye nti n’emikolo gyonna egigenda okukulembera amazaalibwa gano giwedde omuli n’okutegeka empaka z’obugaali,okukola bulungi bwansi, mu divizoni ye Lubaga, olunaku lw’enkya zonna ziwedde.
Kamalabyonna era agambye nti emisinde gya Ssabasajja egigenda okubeerawo nga 12 ku ssande gimaze…
Mu ggwanga lya Japan ka kkapa akawoomerwa omuceere okira emmese kasizza abantu enseko.
Ka kkapa kano kakeera kuguuma ku kyuuma ekifumba omuceere nga kati tekyakyazannya
Kano nno omuceere gakuliirako nakati
Abantu 31 bafiridde mu kabenje wakati wa bus ne loole mu ggwanga lya Morroco era ngabasinze okuffa babadde baana basomero ababadde bava mu misinde gy’empaka.
Abantu abalala 9 balumiziddwa mu kabenja kano akagudde mu kibuga ekimanyiddwa nga Tan-Tan, ekisangibwa mu maseregenta g’eggwanga lino.
Okunonyereza kulanga ng’obubenje bwebweyongedde mu ggwanga lya Morocco era ng’abantu 10 bebafiira mu bubenje…
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Sembabule basembye omubaka we Mawogola Sam Kuteesa yesimbewo awatali amuvuganya mu kulonda kw’omwaka ogujja nga ssentebe w’ekibiina kyabwe mu district eno.
Bano era bamusembye yesimbewo ku bubaka bwa Mawangola ngatevuganyiziddwa.
Mu nsisinkano gyebabaddemu mu maka ga Kuteesa, bano basazeewo nti tewaba ategana okwesimba ku Kuteesa ku bifo byombi mu kamyufu…
Kooti enkulu wano mu Kampala egombye omusango gw’abakyala 19 okuva mu bibiina ebiwakanya government, abawawabira abasirikale ba poliisi ngababalumiriza okubambula mu lujudde ly’abantu.
Abakyala bano ngabakulembeddwamu akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe babadde bagala abasirikale okuli Grace Turyagumanawe, Moses Kafeero, Judith Nabakoba, Grace Akulo n’abalala bagombwe mu poliisi ngabagamba nti bano babambula wamu n’okubafuyira…
Ebibiina by’obwanakyewa bisabye akakiiko k’ebyokulonda okutema empenda okulaba nga ng’abalonzi mu kalulu ka 2016 beyongera.
Okunonyera kulaga nti bana uganda ebitundu 42% baazira okulonda kya 2011, era ng’omuwendo gw’abantu abalonda guze gukengera okuva mu mwaka gwa 1996.
Akulira ebibiina kya Citizens Coalition for Electoral Democracy, Livingstone Ssewanyana agambye nti kyenyamira okulaba nga abakulembeze abaddukanya eggwanga balondebwa bantu…
Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe alabudde bannamateeka ku kunyunyunta abantu bebaweereza nga bagaala okugaggawala mu bwangu
Katureebe agamba nti bannamateeka abamu batuuka n’okusaba emisango gyongerweeyo n’ekigendererwa ky’okwongeza mu nsimbi zebasaba
Omukulu ono abadde ayogerera ku Lukiiko olutegekeddwa ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority n’ekibiina ekitaba bannamateeka nga bateesa ku ngeri y’okutereezaamu empa y’emisolo
Ssabaduumizi wa poliisi gen Kale Kaihura olwaleero akyaddeko ku ttendekero lye Makerere okulaba ebintu nga bwebitambula era nekizuulibwa nti ettendekero lino teririna kamera za CCTV.
Gen Kaihura agamba nti okubulawo kwa kamera zino kussaawo obuzibu obwamaanyi n’awa eky’okulabirako ky’obulumbaganyi obwaali e Kenya ku yunivasite ye Garissa
Kaihura agamba nti kamera zino ziyamba okulondoola abafuluma n’okuyingira ettendekero ekitasoboka…
Waliwo ekibinja ky’abantu abaalwalako kokoolo abaddukidde mu palamenti nga basaba nti gavumenti etereeze eddwaliro erikola ku balwadde ba kokoolo.
Nga bayita mu kibiina kya Uganda women’s cancer Organisation, bano bagambye nti yadde wabaddewo okuseetuka, ddwaliro lino teririimu byuma bimala kuyamba balwadde.
Akulembeddemu abantu bano omukyala Rebecca Mayengo agambye nti ebyuma ebikalirira bitono kko ne sikaani yamagumba kyokka…
Wabaddewo akasambattuko ku luguudo olugata kasese ku Fortportal, police bwezinzeeko oluguudo okukwata emmotoka abadde eteberezebwa okubaamu bomu.
Bino bibadde ku lutindo lwe Nyakasanga , era nga eno muno mu motoka poliisi ekukunuddemu abantu 4 abagambibwa okubeera abatujju nebatwala ku poliisi ye Kasese wakati mu bukuumi obw’ekitalo.
Ayogerera poliisi ye Rwenzori Bakali Muga akakasizza okukwatibwa kwa bano ababadde…