Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kabaka we Zulu asabye okulumba abagwiira kukome

Kabaka waba Zulu Goodwill Zwelithini asabye bannansi ba South Africa okusigala nga bakkakkamu era balekere awo okutta abagwiira Omukulu ono abadde asongeddwaamu olunwe okuvaako obulumbaganyi buno obwakafiiramu abantu musanvu. Abantu abasoba mu 300 bakwatiddwa olw’okukola effujjo. Enkumi n’enkumi z’abantu beebakungaanye okuwulira obubaka bwa kabaka ono Ono agambye nti kikyaamu okusonga ku yye yekka kubanga obulumbaganyi buno bwaava dda kyokka…

Read More

Enfudu eyabula etuuse

Enfudu eyabula okuva ku mukama waayo kyaddaaki emutuseeko. Enfudu eno ey’emyaka 109 emaze omwaka mulamba ng’enoonya mukama waayo Nanyini nfudu eno  Wendy Stokes ow’emyaka 74 agambye nti enfudu eno yamubulako nga bali mu nnimiro kyokka nga musanyufu nti ekomyeewo nga teriiko buvune

Read More

Ettemu- basatu battiddwa

Omusajja afumise mukozi munne ekiso n’amuttirawo lwakumusanga ng’akwata mu ka seefu. Isa Arinaitwe ng’abeera Fortportal y’afumise Faisal Mpagi ow’emyaka 22 namutirawo . Mpagi kati omugenzi asanze Arinaitwe nga abba sente mu loogi ya Pentagon guest house esangibwa e Kawempe n’amufumita ekiso kyokka nga naye amaze n’abulawo n’emitwalo 70 Bino bibadde biri biti Ebadde ntiisa e Kibalinga Mubende omukyala bw’afumise…

Read More

Abakozi mu Orange Telecom bagobeddwa

Abakozi ba Orange Telecom abasoba mu 50 beebatalina mirimu wetwogerera Bano bafunye leero ebbaluwa ezibaraga nti tebakyaali bakozi ba kkampuni ya Orange KKampuni ya Orange yagulwa eya Africel omwana oguwedde era ng’abakozi okuva olwo babadde ku bunkenke Kati ekibiina ekirwanirira ensonga z’abakozi ekya NOTU kiyingidde mu nsonga zino nga kiwandiikidde gavumenti ne kkampuni eno okwemulugunya ku ngeri gy’egobyeemu…

Read More

Ebibiina biwereddwa ssente

Gavumenti olwaleero ewadde ebibiina by’obufuzi obuwumbi kkumi okwetegekera okulonda kwa 2016 Kino kirangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olweggulo lwaleero. Kiggundu agamba nti ensimbi zino zakugabanwa wakati w’ekibiina mukaaga ebirina ababaka mu palamenti. Muno mwemuli aba DP, UPC, JEEMA, FDC, ne CP. Kiggundu agambye nti akakiiko kamaze okwuandiikira ebibiina bino okuwaayo okusaba ssente zino…

Read More

Akatale ke Gulu gafudde tekannaba kutongozebwa

Embuyaga eyamanyi ebanduddeko akasolya k’akatala k’e Gulu akakyazimbibwa nga era kabalindiridde mukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okukaggulawo mu butongole ku nkomerero y’omwezi guno. Kino kizze tewanayita na wiiki nga abakulira municipaali ye Gulu kyebajje bazire akatale kano nga bagamba baakazimbye mungeri ya gadibe ngalye nga era tekatuukagana na mutindo sso nga kaabulabe eri abasuubuzi. Mu kiseera kino abasuubuzi…

Read More

Temuseera mazzi- Kibuule

Minisita wa mazzi omugya Ronald Kibuule alagidde abatunda amazzi ekidomola obutasussa siringi 100. Bino abyogedde  atongozza amazzi aga National Water agatuuse ku kyalo Lwanyonyi nga abeeno bamaze ebbanga nga amazzi ga kekwa. Abatuuze okusinga babadde bakozesa bidiba n’okulembeka ag’enkuba yadde nga  ekitundu kino kyesudde kirometre emu yokka okuva ku luguudo lwe Jinja. Minisita  Kibuule alangiridde nti amazzi wonna…

Read More

Omupoliisi yesse lwakubuza mmundu

Atwala poliisi ya Ogom mu disitulikiti ye Pader yewadde eddagala erifuuyira ensiri neyetta lwakulememerwa kuzuula mmundu ezamubbibwako ku nkomerero y’omwaka oguwedde. Charles Ocakacon taata ow’abaana 6 yeyejje mu budde oluvanyuma lw’emmundu z’eyali aterese ewuwe okubibwa nga agenze ne mukyalawe mu Katale okugula ebyomumaka. Omuserikale ono abadde yaakalabika mu kkooti enfunda 2 okwewozaako ku mundu zino ezabibwa nga…

Read More

Abe Makerere bavuddeyo ku kutemula omwana

Ssenkulu w’ettendekero lya Makerere Prof Mondo Kagonyera avumiridde abayizi abatandise okutwalira amateeka mu ngalo ku ttendekero lino. kino kiddiridde ebbiina ly’abayizi okukakana mu eyali omuyizi ku ttendekero lino David Ojok nebamukuba nebamutta ku kisulo kya Nkurumah. Kagonyera agamba poliisi esaanye okunonyereza era abo bonna abetaba mu ttemu lino bavunanibwe. ono era atadde abakulira abayizi ku ninga okulwana okulaba…

Read More

E Mbale eddwaliro likaabya

Embeera eri mu waadi etuukirwaamu abayi mu ddwaliro lye Mbale yenyamiza ng’abalwadde bagabana ebitanda ate abalala beebaka wansi Tukyaddeko mu ddwaliro lino ng’ekitanda kimu kiriko abaana bana bonna nga bali mu ccupa. Jessica Ochom, omu ku bakola mu ddwaliro lino atutegeezezza nti nabo tebalina kyakukola kubanga tebalina bitanda nga kati bagatta abalwadde naddala abaana yadde bakimanyi nti…

Read More