Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Teri kujingirira ndagamuntu

Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima akakasizza bannayuganda nga endaga Muntu zebaafunye bwezitasobola kujingirirwa. Gen Aronda agamba nti baakitegedeko nga bwewaliwo abantu abamu abaabadde batandise ojingirira ezaabwe ku Nasser road ne Nkrumah okusobola okufuna paasipooti wabula baabaguddemu mu bwangu. Aronda agamba kaadi zino baaziteekako obubonero obwekusifu kale nga kizibu okuzijingirira. Ono era azzemu okukunga bannayuganda bafune endagamuntu…

Read More

Mukula yegaanye eby’obutesimbawo

Omubaka wa municipaali ye Soroti Mike Mukula asambazze ebigambibwa nti y’avudde mu lwokaano lw’okuddamu okwesimbawo mu kalulu ka 2016. Mukula y’adda mu by’obufuzi mu 2011 oluvanyuma lw’okumegebwa munna FDC  Willy Ekemu mu 2006. Kigambibwa nti ku leediyo emu e Teso,Mukula y’ategezezza nga bwatagenda kuvuganya ku kifo kyabyabufuzi kyonna mu kulonda okujja. Wabula mu mboozi eyakafubo naffe, Mukula  Mukula…

Read More

Aba UPC bakkirizza ssente z’akakiiko

Akakiiko akalondesa kawadde ebibiina obuwumbi 10 nga ku zino NRM erina kufunako obuwumbi munaana aba DP kyebagamba nti kirimu obutenkanya ng’ensimbi zino era tezimala Yye nno omwogezi wa UPC David Lucima agamba nti beetaga ensimbi zino okwetegekera okulonda kwa wansi kubanga era ensimbi zino zoogerwaako semateeka Lukima wabula agamba ensimbi zino kandiba akatego eri aba NRM okujja…

Read More

Okubba ettaka:Aba KCCA bayitiddwa

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayise bukubirire atwala eby’okutekeerateekera ekibuga Andrew Kitaka Akakiiko kano kabadde kakamala okuyimiriza okuzimba kwonna ku ttaka okwaali kutudde essomero lya Nabagereka kyokka era nekasaba ab’akakiiko k’ettaka okulaga empappula zonna ezikwata ku ttaka lino. Akakiiko kano akakulirwa Robert Migadde  kakyadde ku masomero agawera okuli Nakasero primary school ne Buganda…

Read More

Mulwanyise endwadde ezitangirwa

Minisitule y’ebyobulamu esabiddwa okwongera ensimbi mu kulwanyisa endwadde ebisobola okutangirwa. Omubaka we Buikwe mu bukiikaddyo Dr. Lulume Bayiga ategeezezza nga bwebazudde nti endwadde ng’omusujja gw’ensiri ne Typhoid bwebisobola okutangirwa ssinga wabaawo amakubo amatuufu ag’okuzirwanyisa. Bayiga era agamba nti kiba kirungi ebitundu nebirambulwa era abantu nebasomesebwa ku ndwadde zino olwo obulamu nebutaasibwa.

Read More

Ebigendererwa ebiggya bijja

Abakulembeze b’amawanga okwetoloola ensi yonna bakusisinkana mu mwezi gw’omwenda omwaka guno okutongoza ebigenderera ebijja okudda mu kifo ky’eby’ekyaasa. Ebigenderera ebiggya byakutuumibwa Sustainable Development Goals era nga byakuba 17. Kati abalwanirira ebyobulamu bagaala ensonga z’ebyobulamu naddala ez’ebyokuzaala by’abakyala n’abaana bissibweeko omulaka. Akulira ekibiina kya White Ribon Alliance Betty Biteyi agamba nti abakyala bangi bafiira mu sanya…

Read More

Musanvu beebagaala okusikira Otunnu

Munnakibiina kya UPC  David Pulkol asunsuddwa okwesimbawo ku bwa ssenkagale bw’ekibiina kino. Pulkol ne  Jimmy Akena bazze bawakanya enteekateeka ezinagobererwa mu kulonda kwa 2016 ezaafulumizibwa ssenkagale w’ekibiina kino Olara Otunu nga era bamulumiriza okweremeza mu ofiisi nga ekisanja kye kyaggwako dda. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino  Andrew Nyote ategezezza nga Pulkol n’abalala 6 bwebatuukirizza ebisanyizo by’okwesimbawo nga…

Read More

babadde bavumirira ebiri e SouthAfrica batangiddwa okukumba

Poliisi erinye eggere mu kukumba kwabannakibiina kya Pan Africa Live Debate ababadde baagala okukwanga ekitebe ky’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ekivumirira ekitta bagwiira mu ggwanga lya South Africa. Ban babadde bategese okukumba okw’emirembe okukwanga omubaka w’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ku nsonga eno wabula poliisi n’ebasindikira ebbaluwa ebayimiriza okugenda mu maaso n’enteekateeka zaabwe. Okusinziira ku bbaluwa eno…

Read More

Eby’essomero lya Nabagereka biranze- Palamenti etabuse

Endoolito ku ttaka okwali kutuula essomero  lya  Nabagereka Primary School zikyalanda. Olwaleero akakiiko ka palamenti ak’enjawulo  akateekebwawo okulondoola ekibba ttaka mu Kampala okuli n’eryamasomero, kayimirizza okuzimba kwonna ku ttaka lino oluvanyuma lw’okusanga ebizimbibwa ku ttaka lino. Nga bakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko, ba memba ku kakiiko kano balagidde KCCA okumenya ebyo byonna ebigenda mu maaso n’okuzimbibwa okutuusa nga enkaayana…

Read More

Amasanyalaze gamukazizza

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Lwebitakuli mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lwomu ku banaabwe okukubibwa amasanyalaze n’afa. Abdullah Lubega 24 omutuuze mu kabuga ke Lwebitakuli y’akaliddewo oluvanyuma lw’okwanika olugoye ku waya y’amasanyalaze mu butanwa nga eno ebadde kumpi ne waya kwatera okwanika engoye. Omukwanaganya w’abakozesa n’okusasanya amasanyalaze mu kitongole kya UMEME mu kitundu kino  Lt. Yafesi Tebayungwa ategezezza…

Read More