Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe asabye bannayuganda abamanyi abalamuzi abalya enguzi okubamulopeera
Katureebe agamba nti awulira abantu bangi nga bagamba nti abalamuzi balya enguzi kyokka nga bw’aba tamanyi mannya talina w’atandikira
Katureebe abadde ayanukula okwemulugunya okukoleddwa eyali omulamuzi George Wilson Kanyeihmba agambye nti abalamuzi bangi abaloopeddwa eri ekibiina ekigatta bannamateeka
Yye akulira abalamuzi Yorokamu Bamwine agamba nti akooye olugambo…
Omutendesi wa tiimu ya Manchester United Louis van Gaal agambye nti eyali omuzanyi wa tiimu eno Ryan Giggs yayinza okufuuka omusika we.
Giggs, 41 yeeyali mu mitambo gy’emipiira ena mu sizoni ewedde oluvanyuma lwa David Moyes okugobwa mu mwaka oguwedde
Van Gaal w’emyaka 63 yassa omukono ku kontulakita etambulira ddala okutuuka mu mwaka gwa 2017
Banansi b'eggwanga lya Malawi beesuddemu akambayaya nebagaana okuddamu okugula ebintu mu maduuka gabanansi ba South Africa agasangibwa mu ggwanga lino, olw’ekitta bagwiira ekigenda mu maaso mu ggwanga lino.
Maduuka aga ba south Africa gasigadde magala olunaku olwalero.
Mu kibuga ekikulu Blantyre, poliisi eyiriddwa okusobola okukuuma amaduuka gano.
Abagwiira 7 bebakatibwa mu ggwanga lya south Africa nadala mu kibuga…
Abantu abalina omusujja mu kibuga kampala bazze bakendeera okugerageranya nga bwegwaali emyaka etaano emabega
Atwala ebyobulamu mu e Nakawa Dr.Christopher Oundo agamba nti abalwadde beebafuna mu malwaliro gaabwe bakendedde okuva ku bitundu 40 ku kikumi okudda ku 25 ku kikumi
Dr. Oundo kino akitadde ku kawefube kwebongeddemu amaanyi mu kulwanyisa omusujja guno
Wabula yadde guno bweguli Uganda lyelimu…
Ba ssentebe ba LC esookerwaako e Wakiso bazize obugaali obwabawereddwa gavumenti okutambuza emirimu gyaabwe nga bagamba nti tebubajaamu
Okutuuka ku kino kiddiridde, akulira abakozi e Wakiso, David Naluwayiro okubategeeza nti pulezidenti yabasuubizza nti ba ssentebe bonna bakufuna obugaali basobole okwanguyirwa ku mirimu.
Ba ssentebe bano nga bakulembedwamu Mukyala Specioza Wamala, kuva Ssabagabo Makindye, bagambye nti obugaali kati…
Eyali Katikkiro wa Buganda Daniel Muliika asabye abantu okwettanira eby’obulimu mu kifo ky’okusabirizanga gavumenti .
Owek. Muliika agamba nti bannayuganda basobola okwegobako obwaavu ssinga gavumenti ekendeeza ku nsimbi z’essa mu ttiyagaasi n’emmundu n’ezissa mu bulimi naddala obw’amatooke n’emmwanyi
Ono era alabudde abantu okwewala eby’obufuzi ebyawula mu mawanga wamu n’amadiini kubanga bizza eggwanga emabega.
Muliika okwongera bino abadde mu…
E Bukomansimbi Waliwo omukinjaaji abbye embuzi y’omutuuze atabbika okukakana nga amuloze n’afa nga akaaba nga yo.
Niga Ssekabira bukyanga abba mbuzi ku kyalo ekiriranyewo abadde akaaba nga nakabege nga era atambula nga yo ssaako n’okuleekanira waggulu nti mubbi wambuzi.
Ssekabira afudde yegayirira nanyini mbuzi amusonyiwe amwambulule eddogo lyeyamusindikira wabula nga buteerere.
Nanyini mbuzi y’awadde Ssekabira essaawa 2 zokka…
Kyaddaaki ekkolero ly’emifaliso erya Crest foam liguddwawo oluvanyuma lw’omuliro ogwakwta ebizimbe mwerili nemufiiramu abantu 6.
Minisita w’abakozi Kamanda Bataringaya ategezezza nga ekkolero lino bwerituukirizza ebyetagisa okukuuma abakozi ku mirimu nga kati baddembe okuggulawo.
Bataringaya agamba alipoota ku muliro guno yakufuluma era esomebwe eri bannayuganda essaawa yonna.
Ye akulira ekkolero lino Joselyn Kateeba ategezezza nga bwebagenda okugoberera buli kyatagisa…
Gavumenti erabuddwa okukomya okukozesa eddagala lya DDT mu kufuuyira ensiri okulwanyisa omusujja gw’ensiri.
Okusinziira ku kunonyereza okukoleddwa ab’ekibiina ekirwanyisa omusujja gw’ensiri ekya Uganda Network on Toxic Malaria Control, eddagala lya DDT lirimu ebirungo ebyomutawaana eri obulamu bw’abantu.
Nga ayogera ku mikolo gy’olunaku lw'omusujja gwa Malaria mu nsi yonna olw'okukuzibwa olunaku lwenkya, omuwandiisi w’ekibiina kino Ellady Muyambi ategezezza…
Omusajja enzaalwa ya Bungereza abadde agenze okukyalako mu Florida aggaliddwa lwakufuka mu kyuuma ekikola icecream
Andrew Wood ow’emyaka 41 awabiddwa omukuumi amulabye ng’akola ekikolwa kino.
Omusajja ono agambye nti abadde ayagala kulaba icecream bw’afanaana ng’atabuddwaamu omusulo