Abakozi ba MTNmukaaga abasingisiddwa omusango gw’okunyaga obuwumbi 3 basibiddwa emyaka mwenda
Ekibonerezo kibasaliddwa omulamuzi Paul Mugamba.
Omulamuzi era alagidde poliisi okuzza obukadde 800 zeyasanga n’abakozi bano
Omulamuzi wabula agambye nti bano ssi bakuliwa kubanga bakizudde nti babadde betowaze kyokka nga balina okubonerezebwa
Ono agambye nti bakizudde nti MTN ezze enunula ssente zino kale ezisinga bazifunye
Abasibiddwa kuliko Iren Kauma, Peter…
Abantu obukadde 8 bebakoseddwa Musisi eyayugumizza eggwanga lya Nepal nga bano kimu kyakuna ku bantu bonna abali mu ggwanga lino.
Amawanga ag’enjawulo gatandise okuweereza obuyambi eri eggwanga lino wabula nga akakadde ka doola akasoba mu kalamba kakyetagibwa okugula emmere okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte.
Abantu abasoba mu 4000 beebakafa sso nga abali eyo mu 8000 bali bubi.
Kati…
Poliisi ye Masaka eriko omusawo w’ekinansi gwekutte lwakubba obukadde 5 okuva eri omukozi wa mobile Money.
Apollo Bwebale omutuuze ku kyalo Kijonjo –Naluzali Village y’akwatiddwa olwokubba Florence Nalukenge ku luguudo lwa Elgin.
Kigambibwa nti omusawuzi ono y’alimbalimba omukyala ono nga ssente z’abadde akozesa mu mobile money bweziriko ekikolimo nga n’edduuka lya lyandikwata omuliro olw’ekikolimo kino kale nga…
Kkooti ye nakawa eyongeddeyo akadde omusawo munnayuganda awangalirira mu ggwanga lya Australia Dr. Aggrey Kiyingi okweyanjula mu kkooti.
Kiyingi kati alagiddwa okudda mu kkooti nga 26 May oluvanyuma lw’enfunda 2 nga ayitibwa okweyanjula wabula natalabikako.
Omuwaabi wa gavumenti Anne Ntimba asabye kkooti okwongera omusango guno nga bwebeyongera okukunganya empapula z’omusango guno.
Kiyingi ne banne abalala 5 bavunanibwa misango…
Nga nsalesale w’okulongoosa enkalala z’abalonzi agenda asemberera okuggwako, bannayuganda ab’enjawulo bajumbidde okwekebera.
Akakiiko k’ebyokulonda gyebuvuddeko kaalabudde nga bwekatagenda kwongezaayo nsalesale ono aggwako ku lwokuna luno.
Ebibiina byobwanakyewa ebirwanirira enkola ya demokulasiya mu ggwanga byongedde okukoowola bannayuganda okujumbira okukebera amanya gaabwe ku nkalala z’abalonzi mu kulongoosa enkalala zino okugenda mu maaso.
Okulongoosa enkalala zino kwatandika nga 7 omwezi guno…
Omuntu omu afiiriddewo mu kabenje akagudde wali e Nyendo mu disitulikiti ye Masaka.
Akabenje kano kavudde ku kiloole namba UAG 901Y okulemererwa omugoba waakyo nekikuba ekinnya nekiyingirira omuvuzi wa bodaboda omu n’afiirawo.
Loole eno era eyingiridde taxi ebadde edda e Mutukula n’erumya abantu 3.
Mu ngeri yeemu
E Mukono abantu 2 bafiiridde mu bubenje obw’enjawulo okubadde n’akulira eby’obutonde bw’ensi…
Abantu 4 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga bali bubi oluvanyuma lw’okuziyira olw’omukka ogubalagala ogukubiddwa mu katale kewakisekka.
poliisi ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala okugumbulula abasuubuzi ababadde bavudde mu mbeera nga olwa KCCA okubagoba ku nguudo webakolera mu kiseera nga akatale kaabwe kali mu kuzimbibwa..
Bbo abantu 5 bakwatiddwa mu kavuvungano akabaddewo.
Amawanga agatali gamu gasabiddwa okuvaayo okutaasa embeera eri mu ggwanga lya Burundi ng’ekizimba tekinnasamba ddagala.
Abantu babiri beebakafiira mu bulumbaganyi buno obuvumirira eky’omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okuddamu okwesimbawo.
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo ategeezezza nti kano ke kaseera ebibiina nga Africa Union,kkooti y’ensi yonna n’ekibiina ky’amawanga amagate okuyambako okuyimiriza ab’ebyokwerinda abakozesa eryaanyi ku…
Okuddukirira abantu abakoseddwa Musisi mu ggwanga lya Nepal kugenda mu maaso nga n’abafukuula ettaka nabo bakola egyaabwe
Abantu kati 3,726 beebagambibwa okuba nga bafudde ate abalala 6,500 nebalumizibwa.
China, India, Pakistan ne Britain ageegamu ku mawanga agawaddeyo obuyambi.
Eggwanga lya Nepal lyongedde okusaba obuyambi nga lyetaaga okuva ku nyonyi okutuuka ku bulangiti n’abasawo.
Abantu abali mu 200 beebataasiddwa
Allen Kagina kati y’akulira ekitongole kya UNRA ekikola ku by’enguudo.
Ono asikidde Sebbuga Kimeze abadde anonyerezebwaako ku nsonga z’okubulankanya ensimbi z’oluguudo lwe Katosi Mukono n’ez’okuzimba eggali y’omukka.
Kagina yakulembera ekitongole ekiwooza ekya URA okumala emyaka egisoba mu 10.