E Masaka Obuvuyo bwenyongedde okweyoleka mu kulonda kw’ekibiina kya DP nga balonda abakulembeze baabwe abokubyalo.
Ebifo ebisinze okukosebwa kuliko amagombolola ye Nyendo /Ssenyange ne Bukoto East n’ewalala.
Bannakibiina kya DP bagamba nti okulonda kuno mulimu okugulirira abalonzi, okuleeta abalonzi okuva mu bifo ebirala nebalondera mu kitundu kyabwe n’emivuyo emirala.
Ssentebe bwa DP e Masaka Fred Denis Mukasa Mbidde…
Kkooti etaputa ssemateeka egobye omusuusbuzi omututumufu Drake Lubega mu paaka ya baasi eya Qualicel Bus Terminal n’eragira munne bwebabadde bagugulana mu kkooti Charles Muhangi addemu okuddukanya paaka eno.
Abalamuzi abasatu okuli Remmy Kasule, Faith Mwonda ne Richard Buteera bonna bakkiriziganyizza nga Lubega bw’abadde addukanya paaka eno mu bukyamu nga Muhangi y’alina obwananyini ku ttaka lino.
Munnamateeka wa…
Poliisi ekakkanya obujagalalo e Mubende eyitiddwa bukubirire okukkakanya abasubuuzi abakolera mu katale ka Simons Food Mart ababadde beekalakaasa .
Bano bawakanya abatwala eby'obulamu mu kibuga Mubende okuwamba obuyumba bwaabwe mwebakoleranga bagamba nti ekifo kikyafu era nga bakolerawo mu bumenyi bwamateeka
Kino kitanudde abasubuuzi nebalumba ekitebe kya tawuni kanso ye Mubende nga bakulembeddwaamu Simon Vvuubi nyini katale kano…
Akakiiko k’ebyokulonda kongezzaayo nsalesale w’abantu okwekebera ku nkalala z’abalonzi ne nnaku 5 mu kulongoosa enkalala zino okugenda mu maaso.
Nsalesale w’okulongosa enkalala z’abalonzi abadde aggwanga olunaku lwenkya wabula nga kati kwakugenda mu maaso okutuusa nga 4 omwezi ogujja.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu ategezezza nga bwebakoze kino okuwa omukisa abo bonna abatanekebera ku nkalala zino okukikola…
Omu ku bantu 6 ab’enyumba emu abaayiriddwa asidi afudde.
Omukaaga bano banyumba emu e wabiyinja mu gombolola ye masuulita .
Afudde yemwami Henry ssozi nga bbo abalala okuli mukyalawe Agnes Kigongo bakyali mu ddwaliro ekkulu e Mulago bali bubi.
Omukaaga bano olunaku lweggulo baddusiddwa e Mulago nga bapocca n’ebiwundu ebyamanyi oluvanyuma lwa kalittima okubayiira asidi ku nsonga ezitanategerekeka.
N’okutuusa kati abantu mu bukama bw’abasongola bakyakungubaga oluvanyuma lw’Omukulembeze waabwe ow’enono Rwidi Ivan Bwebale IV okufa.
Omugenzi y’afudde ekiro ssaawa ssatu n’ekitundu ku ddwaliro lya Kadic e Bukoto gyeyatwalibwa nga ali bubi.
Okusooka omugenzi y’atwalibwa mu ddwaliro e Nsambya gy’abadde okumala wiiki 3 okutuusa lweyatwaliddwa ku Kadic.
Omugenzi afiiridde ku myaka 72 nga era nga obukulembeze bwe bubaddemu…
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asiimye okulabikako eri Obuganda okuva nga 1 okutuuka nga 2 omwezi ogujja mu ssaza lye Buluuli.
Omutanda era eno gyagenda okuggulirawo emipiira gy’amasaza ku kisaawe e Migeera.
Bw'abadde atongoza emipiira gy’amasaza, Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti omutanda wakulambula amagombolola okuli Kalongo ne Nabinyonyi , era nga wakulambula…
Embeera eri mu ggwanga lya Nepal yakazigizigi kenyini ng’abakaafa basusse mu 5000 ate nga basuubirwa okutuuka ku mutwalo
Bano balumbiddwa Musisi eyasudde ebizimbe nga negyebuli kati abantu bakyaali wansi wa mafufungu
Abaddukirize bakola kyonna ekisoboka okutaasa abantu kyokka nga n’abalamu embeera etabuse olw’ebikozesebwa
Ebibiina ebitali bimu bikyagenda mu maaso n’okutuusa obuyambi kyokka nga tebumala
Ssabaminisita w’eggwanga lino agamba nti…
Minisitule y’ebyobulamu yakutandika okugema obulwadde bwa poliyo ng’ekozesa empiso
Luli abaana babadde batonyezebwa ddala mu kamwa
Akulira eby’okugema mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Robert Mayanja agamba nti okuva mu gw’omwenda omwaka guno, abaana abali wansi w’emyaka etaano bakukubwa nga mpiso.
Agamba nti gavumenti emaze okufuna akawumbi kalamba okutandika okusomesa abantu ku nkola eno.
Abalwadde abeetaga sikaani e Mulago batandise okusaba nti basiibulwe oluvanyuma lw’okulemererwa ebisale bya sikaani z’ebweru
Mu kadde kano e Mulago teri kyuuma kya sikaano kyokka nga mu malwaliro ebweru, omuntu yeetaga ensimbi eziri wakati w’emitwalo 20 ne 50 okukeberebwa kale bangi nga tebasobola kufuna nsimbi zino
Mu ddwaliro e Mulago, ekyuuma kyekimu kya mitwalo 12
Abamu ku betwogeddeko…