Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Baasi za Pioneer zikomyeewo

Baasi za pioneer kyaddaaki zikomyeewo ku nguudo z’omu kibuga kampala Baasi zino zitandikidde ku luguudo lwe Jjinja ne portbell era ng’abalinya basasula shs 1000 Kino kiddiridde KCCA okumaliriza okwekebejja enkoal za kkampuni eno era kontulaliti empya nezissibwaako emikono. Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti baasi ezisoba mu 40 zeezimaze okwekebejjebwa nga zitandise okukola

Read More

SSabassajja Kabaka ayuuguumizza Buluuli

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye omulimu ogukoleddwa abakulembeze mu ssaza lye erye Buluuli okujja abantu mu bwavu. Omutanda era atendereza enkolagana ennungi wakati w’abakulembeze b’essaza n’abakulembeze aba gavumenti ey’awakati mu kuwereza abantu. Ssabasajja Kabaka asoose kulambula essaza lye Buluuli. Ssabasajja atuuseeko mu gombolola ye Kalungi n’aggalawo olusiisira lw’ebyobulamu era ng’agabye n’endokwa z’emwanyi mu kawefube…

Read More

Lunaku lw’abakozi

Emikolo gy’okukuza olunaku lw’abakozi gyikyagenda mu maaso mu district ye Kisoro ku somero lya Mutorere Primary School. Ye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atandise okwogerako eri abagenyi abenjawulo omuli  minister  Muruli Mukasa, Karoro Okurut, Gen. Aronda Nyakairima ne ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe. Ye ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abakozi ekya Central Organisation of Free Trade Unions Sam Lyomoki awagidde…

Read More

Kkooti ekkirizza omusajja attibwe

Kkooti mu ggwanga lya SouthAfrica eriko omusajja gw’ekkirizza okwetta olw’obulumi obungi bw’alimu Kkooti etude mu kibuga Pretoria esazeewo nti Robin 65, alina obulwadde bwa kokoolo akwata ebitundu by’abasajja eby’ekyama attibwe ng’abasawo bakikola mu ngeri etta obulumi n’ayitirayo Omulamuzi agambye nti omusawo akola ku musajja ono nebw’anamutta taggulwangako emisnago kubanga akkiriziddwa okukikola okutaasa omulwadde we obulumi obususse

Read More

Owa sukaali azadde bulungi

Omukyala amenye likoda bw’azadde omwana bulungi nga tasaliddwa ate ng’alina obulwadde bwa sukaali Omukyala ono baali baamussaamu akawago k’ekimpatiira okumuyamba okukuumira sukaali we awatuufu. Catriona ow’emyaka  41 azaalidde mu ddwaliro lya Norfolk era ng’akubyeewo ddenzi. Omukyala ono alina ekika kya sukaali asooka ng’ono kibadde tekirabikangako omukyala amulina okuzaala nga tasaliddwa Akuuma akamussibwaamu kazze kakozesebwa ne ku bakyala abalala kyokka…

Read More

Obukiiko bw’ebyaalo buyambibwe

Ebibiina by’obwa nakyeewa bisabye gavumenti okwongera amaanyi mu bukiiko bw’ebyaalo obukola ku byobulamu Omukugu mu nsonga z’okulondoola ebikolebwa mu kibiina kya Pathfinders Caroline Ssekikubo agambye nti obukiiko  buno bukola omulimu gwa maanyi okuwereeza abantu ku mitendera gya wansi. Ono agamba nti okuva mu mwaka gwa 2011, obukiiko buno bubadde bukola wansi w’enkola eya bulungi bwa nsi nga…

Read More

Abavuganya basimbudde ku mateeka g’okulonda

Abakulembeze b’oludda oluvuganya gavuenti wansi w’omukago gwabwe gwabwe ogubagatta ogwa Interparty Cooperation batongozza kawefube w’okukunga bannayuganda okusimbira ekkuuli enongosereza mu ssemateeka ezafulumiziddwa gavumenti.   Nga bakulembeddwamu loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kizza Besigye, bagamba nti gavumenti eriko kati tekiikirira kwagala kwabannayuganda kale nga tesobola kutegeka kulonda kwamazima.   Bano baweze nga bwebagenda…

Read More

Aba Mbabazi bagobeddwa

Ekibiina ky’abavubuka ba  NRM mu bitundu bye Rwenzori kigobye abakulembeze baakyo 3 lwabigambibwa nti bekwenyakwenya n’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi.   Okusinziira ku bbaluwa eyabagobye eyawandiikibwa nga 29 April 2015, abasatu bano babadde balya mu lurime ne luzise.   Abagobeddwa kuliko  Hidden Basiima nga ye ssentebe w’akakiiko akatwala abavubuka  mu kitundu kino, Stella Kemigabo nga ono kansala w’abakyala ssaako…

Read More

Omulambo mu kibira

Entiisa ebuutikidde abatuuze be  Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omusajja atanategerekeka. Kasimu Jjunju y’agudde ku mulambo guno nga abadde alunda nte ye mu kibira. Jjunju agamba awulidde ekivundu ekyamanyi okugenda okwekeneneya amaaso agakubye ku mulambo oguvunze. Okusinziira ku  Deo Mutate ,nga ono ye ssentebe w’ekyalo Kabigi,omulambo guno gubadde gumaze mu nsiko kumpi wiiki namba. Agamba…

Read More

Omwana attiddwa

    Poliisi eriko omulambo gw’omwana omuwala ow’emyaka 14 gwezudde nga gusuuliddwa ku luguudo lwa Yusuf Lule amakya galeero. Rehema Nassali nga muyizi ku ssomero lya  Buganda road primary school kigambibwa nti y’asoose kusobezebwako abantu abatanategerekeka nga tebanamutta. Taata w’omugenzi ategezezza nga bwayitiddwa bukubirire okuva mu maka ge e Katanga amakya galeero oluvanyuma lwomu ku baliraanwa okulaba omulambo gwa…

Read More