Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Lokodo awakanya okukozesa kondomu

Minisita akola ku mpis an’obuntu bulamu Fr. Simon Lokodo takkiririza mu nkola ya kukozesa bupiira bugalimpitawa ng’agamba nti buno bwongera bwenzi. Ebigambo bya minisita bikontana n’enteekateeka ya gavumenti etumbula okukozesa obupiira. Ono abadde ayogerako eri ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku bya mukenenya okuva mu Tanzania nga bano babadde bakyaddeko ku kakiiko akakola ku nsonga…

Read More

Aba FDc bagobye Sejusa

Ab’ekibiina kya FDC balangiridde nga bwebatajja kukkiriza nkolagana yonna n’eyali akulira ba mbega ba gavumenti Gen David Ssejusa. Ssejusa yali yawandiikira aba FDC ng’asaba okubasisinkana bateese ku ngeri y’okukwataganamu okuwangula okulonda kwa 2016 era nga kino yakikozedda eri DP UPC ne Jeema Omwogezi wa FDC John Kikonyogo agamba nti ng’ekibiina basazeewo obutakolagana ne Ssejusa oba munnamaggye yenna…

Read More

Owa M23 akwatiddwa

Poliisi e Mubende ekute agambibwa okubeera omuyekeera w’ekibinja kya M-23 nga bano bebazze balumba eggwanga lya Congo. Ono asangiddwa  mu kitundu kye Lusaalira mu gombolora ye Kibalinga ng'asangiddwa n'ebyambaalo by'amaggye ga M-23 n'ekibundu kimagezi maganda. Ono ategerekese nga Emmanuel Hakuzimana ng'aweza emyaka 17 nga era okugombwamu obwala kigambibwa nti abadde anonye mmere mu bitundu by'e Lusaalira okugitwalira…

Read More

Olukiiko lw’abasikawutu lwakutuula Uganda

Uganda yakutegeka olukungaana lwabasikawutu mu nsi yonna olumanyiddwa nga  Jamboree wali e  Kaazi mu August w’omwaka guno. Byonna byakutandika nga 18 nga era omuyima w’abasikawutu mu nsi yonna kabaka w’eggwanga lya Sweden naye wakulwetabamu. Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, minisita w’ekikula ky’abantu Muruuli Mukasa ategezezza nga abavubuka abasoba mu r 30,000 bwebasuubirwa okulwetabamu nga era baakuganyulwamu nyo kubanga…

Read More

Teri Ambulensi masaka

Abakulira eby’obulamu m disitulikiti ye Masaka beralikirivu olw’ebitundu ebiwerako mu disitulikiti eno obutaba na motoka zitambuza balwadde ezimanyiddwa nga zi ambulensi. Kino kibikuddwa akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno Dr. Stuart Musisi mu kuwaayo ambulance ku ddwaliro lya Bulamu mu tawuni ye Masaka.   Dr Musisi agamba n’eddwaliro ekkulu e Masaka terilina mmotoka zino sso nga abantu okuva mu…

Read More

Gavumenti erumbye bannakyeewa ku buseegu

Gavumenti enenyezza ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu olwokulemererwa okulwanyisa obuseegu mu ggwanga.   Minisita omubeezi ow’empisa n’obuntumulamu  Rev. Father Simon Lokodo agamba ebibiina bino biremesezza gavumenti okulwanyisa  abalenga akaboozi abamu ku basaasanya obuseegu.   Bino Lokodo abyogedde asisinkanyemu ababaka ba palamenti y’eggwanga lya Tanzania abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga za siriimu wali ku kitebe ky’akakiiko akalwanyisa siriimu wano mu…

Read More

Abesunze olwa Mayweather ne Pacquiao boogera bingi

Oluzannya wakati  w’omumerika Mayweather ne Manny Pacquiao lweluli ku mimwa gy’abantu mu nsi yonna nga balwesunze nga kyakulya. Bano nno bepimye olwaleero nga Mayweather azitowa pawunda 146 ate Pacuio omu philipino ng’alina pawunda 145. Abantu omutwalo gumu mu lukumi mu bitaano beebaddewo ng’abantu bano beepima. Oluzannya luno olwa nantameggwa w’engumi mu nsi yonna lusuubirwa okuvaamu obukadde bwa doola…

Read More

Omuzaana azadde omumbejja

Omuzaana Kate, mukyala w’Omulangira William ow’e Bungereza kyaddaaki azadde omwana owookubiri. Kate akubyewo Mumbejja. Kate, eyafumbirwa Omulangira mu April 2011, yasooka kuzaala mwana wa bulenzi, Omulangira George mu ddwaaliro lye limu ly'azaaliddemu erya St. Mary's Hospital wakati mu kibuga London mu July wa 2013.

Read More

Tekyaali ssuubi mu Nepal

Ab’obuyinza mu ggwanga lya Nepal bategeezezza nga bwebatakyasuubirayo mulamu yenna kuva mu bifunfugu oluvanyuma lwa Musisi okuyuguumya eggwanga lino. Kati emirambo egyakalabikako giri 6,621. Omwogezi wa gavumenti ategeezezza nti kati balwana kutuusa buyambi ku basumattuka naye ng’esuubi ly’abalamu lyabaweddemu Nepal  egamba nti abantu emitwalo 14,021 beebakosebwa Musisi eyayita ku lw’omukaaga.

Read More