Abavubuka b’ekibiina ekyeyita ekyabaavu ekya poor youth’s brigade mu lufuutifuuri balangiridde enteekateeka zaabwe ez’okutambula omwezi mulamba batuuke mu ggwanga lya Kenya.
Olugendo lwabwe balutuumye olugendo lw’okufuna emirembe baakulutegeka mu kiseera kyekimu omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama lwagenda okukyalako mu ggwanga lino mu mwezi ogwomusanvu omwaka guno.
Mu kwogerako nebannamawulire amakya galeero, abavubuka bano abakulembeddwamu Richard Kirekyankuba…
Ebibiina by’obwanakyewa bisabye poliisi ereme kwekubira ludda wabula bakole n’obukugu obwetagisa okulaba nga okulonda kwa 2016 kubeera kwamazima.
Akulira ekibiina kya RIDE-Africa Sam Rukidi agamba singa poliisi yekubira oludda kyandivaako obutabanguko mu ggwanga.
Nga ayogerera mu lukungaana lw’abalwanirira eddembe ly’obuntu, Rukidi y’ategezezza nga ebitongole ebikuuma dembe okwetaba mu kulonda bwekitiisa abalonzi.
Wabula minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga ezze ekalambira…
Poliisi ye Bukomansimbi eriko omusumba w’abalokole gwekutte lwabigambibwa nti aliko omukyala gweyakabasanyizza.
Muhamad Nyerere akulira ekanisa ya Butenga Miracle Center y’akwatiddwa ku bigambibwa nti yesozze enyumba y’omukyala ono n’amumalirako ekimiirimiiri.
Omukyala ategezezza nga omusumba ono bweyamenye oluggi lwe olw’emanju natuukira mu kisenge n’amukaka akaboozi.
Mukazi wattu agamba y’agezezzaako okukuba enduulu wabula Nyerere n’amusaba asirike aleme kumuswaza wabula n’amuwawabira…
Waliwo embizzi eyakula n’ewola egezezzaako okugwiira omukyala okumukaka omukwano mu maaso g’emmotoka ye
Kino kibadde mu ggwanga lya New Zealand ng’omukyala ono asoose kugoba mbizzi eno ebadde wakati mu luguudo w’abadde alina okuyita
Omukyala ono afulumye mu motoka okugigoba kyokka n’emusimbako era okukkakkana ng’emujjeemu empale gy’abadde ayambadde
Omukyala ono ataasiddwa omusajja abadde alaba bino kyokka nga yenna emuleseeko…
Abakuuma ddembe enzaalwa ye Tanzania babiri battiddwa mu bulumbaganyi obubakoleddwaako mu ggwanga lya Democratic republic eya Congo.
Abalala 13 beebalumiziddwa mu bulumbaganyi obugambibwa okuba nga bukoleddwa abayekeera ba ADF
Buno bwe bulumbaganyi bw’okubiri okukolebwa ku bakuumaddembe b’ekibiina ky’amawanga amagatte mu ssaawa 48
Poliisi ya wano e Uganda ekwatagannye ne gavumenti ya Tanzania okukomyaawo omuduumizi w’abayeekera ba ADF eyakwatibwa mu ggwanga eryo.
Olunaku lwajjo gavumenti ya Tanzania yakakasizza nti omuntu gwebakwata ye Jamil Mukulu aludde ng’awenjebwa olw’ebikolwa by’obutujju
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bamaze okulagira Tanzania okutanidka ku mulimu gw’okuzza omukulu ono avunaanibwe
Enanga agambye nti ekibinja ekikulembeddwaamu omukulu…
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abazadde bangi bayigiriza abaana baabwe okunywa omwenge
Abaana ebitundu 34 ku kikumi bagamba nti omwenge baaguyiga bali waka
Bbo abaana abaweza ebitundu 81 ku kikumi bagamba nti bagula omwenge nga bakozesa ensimbi zebajja mu mikwano gyaabwe ate abalala bagamba nti banywa lwa kiwubaalo
Okunonyereza okwazudde bino kwakoleddwa aba Straight talk foundation mu distulikiti nnya…
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akatuze abantu 10 ku luguudo lwe Hoima Kasio- Tonya
Abagenzi kitegerekese nti batuuze okuva mu magombolola ge Kiziranfumbi,Kabwooya ne Buseruka nga byonna bisangibwa Hoima
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abagenzi babadde batambulira ku motoka ya Isuzu Canter nama UAM 396V neyefuula.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lydia Tumushabe agambye nti emotoka eno yefuulidde…
Poliisi ye Kinoni mu disitulikiti ye Lwengo eriko omuvubuka wa mobile money ow’emyaka 22 gwekutte lwakusobya ku mwana ow’emyaka 14 nga asoma mu kibiina kya 6.
Kigambibwa nti Jawadu Ssebayinda y’asikambudde akawala kano nga kadda ewaka n’akaganzika mu kasiko n’akamalirako ekimiirimiiri.
Okusinziira ku maama w’omwana ono Rose Nayiga, tmuwalawe y’abadde agenze mu maka ga kojjawe amuyambe ku…
Poliisi etandise okunonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku yali akulira ekitongole ekisikiriza bamusigansimbi mu ggwanga Dr Maggie Kigozi.
Kigozi yalumbiddwa mu maka ge e Kakeeka Rubaga nga bano bayise mu ngalama( Ceiling) okutuuka munda mu nyumba
Omukyala ono enkya ya leero awereddwa ekitanda ku Nakasero Hospital era abasawo nebamwekebejja n'oluvanyuma nebamusiibula
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye…