Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abalamuzi balayiziddwa

Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Katureebe alayizza abalamuzi b’eddaala erisooka 8 ku kkooti enkulu wano mu Kampala.   Nga amaze okubalayiza, abalabudde obutaba ba myoyo mitono nga balya enguzi era n’abakubiriza okubeera abenkanya nga basala emisango.   Ssabalamuzi era aliko ebyuma mi kalimagezi ebyomungalo 47 by’awadde abalamuzi abakulu okwewala abantu okusomola ensala y’emisango gyabwe nga tebanagiyisa.   Katureebe ategegezza abalamuzi baakuyambibwa okunonyereza ku…

Read More

Abawandiisi ba kkooti n’abalamuzi bakyusiddwa

Omuwandiisi wa kkooti enkulu  akoze enkyukakyuka mu balamuzi nga era abalamuzi 31 n’abawandiisi ba kkooti bakyusiddwa. Abadde omuwandiisi wa kkooti enkulu Roy Byaruhanga asuulidwa n’asikizibwa  Tom Chemutai abadde akola nga omuwandiisi mu kkooti yokuntikko.   Deo Nizeyimana asiddwa eddaala okuva ku muwandiisi wa kkooti ejulirwamu n’azzibwa ku ky’obulambuzi bw’amakkooti n’asikizibwa Amos Kwizera. Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda…

Read More

Ababundabunda babbidde

Waliwo ababundabunda abalala abafiiridde ku lyaato ku ssemayanja wa Mediterranean. Ekibiina ekya Save the children bagamba nti abantu abali mu 137 beebagambibwa okubeera nga bali ku lyaato lino era nga bonna kigambibwa nti bafudde Ab’ekibiina kino bagamb nti kubaddeko abantu 40 ababadde basumattuse kyokka nga bafudde eryaato eribadde lisindikiddwa okubataasa terinnatuuka Bino bigenze okubaawo ng’abantu 1,750 abalala beebakafiira…

Read More

Omusomesa yeetuze

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Ngora oluvanyuma lw’omubalirizi w’ebitabo ku ssomero lya Ngora High School okwewa obutwa n’afa.   Mutabani w’omuganda w’omugenzi Charles Eotu  agamba nti yadde nga okunonyereza okusoose kulaze nga bweyafudde obutwa, abadde n’ekirwadde kya sukaali ekibadde kimubala embiriizi.   Akulira essomero lya  Ngora High School, Martin Okiria agamba omugenzi yandiba nga yejje mu budde olwapoliisi okumuggalira ennaku…

Read More

Balakisi ye Kiboga ekutte omuliro

Poliisi ye kiboga eri mu kunonyereza ku kyaviiriddeko omuliro okukwata enkambi yaayo ebintu byabukadde nebisaanawo.   Omuliro guno kigambibwa nti gwatandise ekiro ekikeesezza negusaasana negukwata enyumba ssatu buli kyabaddemu nekifuuka vvu.   Ab’erabiddeko bagamba omuliro guno tegwandisaasanyenyo wabula poliisi ezikiriza omuliro y’atuuse kikeerezi nga paawo kyebaatasizza.   Abamu ku baserikale ba poliisi abafiiriddwa ebyabwe kuliko  Daniel Rukenge, Dominic Ssuna ne  Issac…

Read More

Kagina yeweeredde abalya enguzi

Akulira ekitongole ky’ebyenguudo  mu ggwanga omujja  Allen Kagina aweze okufaafagana n’abali b’enguzi mu kitongole kino .   Agamba wakwekenenya obulyake obwabuli kika mu kitongole kino n’okusingira ddala mu kugula n’okutunda ebintu mu kitongole kino.   Kagina era wakutunula mu bitabo ebyabalibwa okulaba abo boona abazze bemoolera ku nsimbi ezitali zaabwe era n’alabula n’abo bonna abali ku muinzaani ez’enjawulo okufuba…

Read More

Endoliito mu DP zikyalanda- ofiisi e Masaka ziggaddwa

Endoolito mu kibiina kya DP ssizakugwa kati. Ssentebe w’ekibiina kino e Masaka Fred Mukasa Mbidde kati alagidde ofiisi z’ekibiina ziggalwe lwankaayana munda mu kibiina kino. Kino kiddiridde akavuyo akaabadde ku ofiisi eno oluvanyuma lw’okusazibwamu kw’okulonda kw’obukiiko bw’ekibiina ku byalo mu gombolola ze Kimaanya ne Kyabakuza ku bigambibwa nti kwabaddemu okubbira. Abamu ku bannakibiina nga bakulembeddwamu  Brenda Nambirige, Nalubyayi…

Read More

Okukebera enkalala kwongezeddwaayo nate

Okukebera emkalala z’okulonda kwongezeddwaayo okutuuka nga 11 omwezi ogujja Kino kiddiridde abantu okwemulugunya ku budde obubadde obutono era mu bitundu ebiwera abantu basigadde ku nkalala Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Paul Bukenya agamba nti kino bakikoze kubanga nabo basiibye mu bifo ebyanjawulo ng’abantu bayitirivu Okukebera amannya ku nkalala z’abalonzi okubadde kugenda mu maaso kufundikiddwa Kino kibaddewo wakati mu kwemulugunya okuva…

Read More

Babiri battiddwa e Burundi

Abantu abalala babiri battiddwa mu kwekalakaasa okugenda mu maaso mu ggwanga lya Burundi. Abeekalakaasa bawakanya eky’omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okuddamu okwesimbawo ekisanja eky’okusatu. Abaddukirize aba Redcross bamaze okujjawo emirambo gyaabwe kyokka ng’ababadde bagamba nti poliisi y’esse abantu bano. Okwekalakaasa kuno kwatandika kwa kimpowooze ku bbalaza ng’abeekalakaasi balumba poliisi n’amayinja

Read More