Okugyako nga abawaabi ba gavumenti baweereddwa ebyetagisa mu kukola emirimu gyabwe, gavumenti yakumegebwa nyo mu misango egyenjawulo.
Kino kyasanguziddwa amyuka ssabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana agamba okuwulira emisango kulina ekiseera ekigere kale nga nga abalamuzi betaaga okwetegeka obulungi naye nga balina ebikozesebwa ebyetaagisa.
Rukutana agamba ensonga eno esaana okutunulwamu okusobola okutereera.
Abawaabi ba gavumenti baagala kwongerwayo obuwumbi obusoba…
Abatuuze ku kyalo Kaswa mu disitulikiti ye Luweero bakumye omuliro ku mulambo gw’omusajja gwebatebereza okutta mukyalawe ne muwalawe oluvanyuma naye neyetta.
Omulambo gwa John Nsigiriyarema Byaruhanga gusangiddwa abaana ababadde bagenze okukima amazzi ku bowa .
Kigambibwa nti omusajja ono yasoose kutta mukyalawe Rose Nanteza n’omwana mujja nanyina Marion Noreen ow’emyaka 16 era emirambo gyabwe n’agikumako omuliro.
Ssentebe w’egombolola…
Abatuuze be Mukono abenjawulo bavuddeyo nga bemulugunya ku ddwaliro lya gavumenti mu kitundu erya Mukono Health Center IV olwobulagajjavu mu basawo ekiviriddeko abantu abawera okufirangayo.
Bagamba abasawo batono naye babogokka ngabamu bemulugunya neku bukugu bwabwe ekisubirwa nti abamu baba bayiga ate nebemorera ku bulamu bwabantu.
Abakozesa eddwaliro linno betwogeddeko nabo batubulidde ku mbeera gyebayitamu.
Wowulirira bino nga waliwo…
Abasajja bangi abali waggulu w’emyaka 35 tebajjumbira okukomolwa nga bweguli ku bavubuka abali wakati w’emyaka 10 ne 19.
Minisitule y’ebyobulamu egamba nti bakizudde nti abasajja bano kubanga babeera bafumbo bakyala baabwe babagaana okukomolwa nga batya nti bajja kwenda ssinga bakomolwa
Atwala enteeka teeka y’okukomola abasajja mu minisitule y’ebyobulamu Dr Barbara Nanteza agamba nti abakyala bano bagamba nti…
Abantu bana beebafudde mu kwekalakaasa okuggya okubaluseewo mu ggwanga lya Burundi
Kiddiridde omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okutegeeza nga bw’ajja okwesimbawo ku luno kyokka nga eby’ekisanja ky’okuna yabivuddeko
Yye omuwagizi wa gavumenti abadde atinkiza bamukumyeeko omuliro ate ng’avuganya gwebakubye essasi ku mutwe
Omukago gw’amawanga ga Africa gwegasse klu America okusba Nkurunziza okuva ku by’okwesimbawo
Abantu kati 17 beebakafiira…
Abayizi be Makerere 3 abagambibwa okutta eyali muyizi munaabwe David Ojok baddiziddwaayo e Luzira.
Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda road Pamela Ocaya nti okunonyereza ku nsonga eno kukyagenda mu maaso.
Abasatu kuliko Ivan Mutungi, Marvin Atukwase ne Derrick Wagooli nga balabiseeko mu kooti okumanya okunonyereza ku musango gwaabwe wekutuuse
Kati gwongezeddwaayo okutuuka…
Abasawo e Mulago bamaze okusalako okugulu kw'omutembeyi eyatomeddwa emotoka akawungezi k'eggulo ng'abasirikale ba KCCA bamugoba olw'okukolera ku luguudo.
Shamim Namakula aweza egy'obukulu 42 nga mutuuze we Kibuye ,yakoneddwa ku luguudo lwa Nakivubo gy'akolera .
Mu ngeri yeemu twogeddeko abamu ku basuubuzi bakola nabo wabula bonna beevuma enkola y'abasirikale ba KCCA engeri gyebabakwatamu era banno balajaanidde akulira ebyekikugu…
Ekitongole ekikola ku bigezo mu ggwanga kitandise ku mulimu gw’okufuna omuwandiisi omuggya
Omuwandiisi w’ekitongole kino mu kadde kano Matthew Bukenya wakuva mu ofiisi nga 1st November era ng’ekigendererwa kyakufuna omusika we mu mwezi gwa December.
Ssentebe w’ekitongole kino Kakensa Mary Okwakol agamba nti ssabbiiti ejja bajja kulonda kkampuni egenda okukola omulimu gwonna era basuubira nti bakutambulira mu…
Olukiiko lw’ebyettaka mu bwakabaka bwa Buganda olwa Buganda land board lwegaanye essomero lya Nabagereka primary school nti tebalirinaako bwananyini.
Bano bagamba gavumenti eyawakati y’agenda okubaddiza ebimu ku bintu bya Buganda nga akakiiko k’ebyettaka ak’eggwanga kamaze okugaba ettaka lino eri abakampuni ya Boost investments ku liizi ya myaka 99 okulikulakulanya .
Ekyali kisigalidde ye Buganda okumaliriza emisoso emirala…
Obukadde n’obukadde bwa Bangereza batandise okusuula obululu bwabwe okulonda abakiise baabwe abenjawulo.
Ebifo ebisoba mu mitwalo 5 byebatereddwawo okulonderawo okutuusa ku ssaawa 4 ezekiro.
Okusooka ababaka ba palamenti bebagenda okulondebwa nga era abantu abasoba mu bukadde 50 bebewandiisa okulonda.
Ababaka ba palamenti 650 bebokuilondebwa ssaako nebameeya.