Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ettendekero lya poliisi erye Kabalye mu disitulikiti ye Masindi.
Abadde alikulira Moses Kafeero akyusiddwa n’asikizibwa abadde aduumira ekibinja kya poliisi ekirwanyisa obutujju Frank Mwesigwa.
Kafeero kati atwaliddwa ku ttendekero lya poliisi eddala erye Bwebajja .
Yadde nga tetusobodde kwogerako namwogezi wa poliisi ku nsonga eno, ye Kafeero akkirizza nga…
Yadde nga nsalessale w’okujjako TV ezitaliiko dikooda atuuse, abantu bango tebafuddeeyo kuzigula
Abatunda dikooda zino mu ggwanga bagamba nti abantu bakyagaanye okuzigula era ng’eggwanga terinnaba kwetegeka kukyuusa yadde nsalessale wa nga 17 omwezi gw’omusanvu.
Kitunzi wa Star Time Aldrine Nsubuga agambye nti abantu bamanyiira nti TV bazirabira bwereere nga beetaga okuyitamu mu ngeri y’enjawulo okubajjukiza
Omusajja ow’emyaka 33 atambudde mailo 16 n’ekidomola kya liita 20 nga tawummuzza era neyewangulira emitwalo 40
Japhet Mwebembezi omutuuze we Kyanamukaaka atambudde olugendo lwa mailo 16 mu mpaka z’abaddemu ne munne ategerekese nga Paul Muwonge
Mwebembezi ategeezezza abatuuze nti asobola okutambula okuva e Kyannamukaaka okutuuka e Masaka mu tawuni n’ekidomola ky’amazzi kino nga tawummuzza nebamuwakanya era nebasiba…
Ab’oluganda n emikwano gy’abantu abayokeddwa acid basabye gavumenti ebayambe ku mugagga eyeefudde mmo ku kyaalo kyaabwe.
Abantu mukaaga ab’omu nju emu bayokeddwa aside nga ku bano omusajja afudde enkya ya leero kyokka ng’omukyala n’abaana bakyapooca n’ebiwundu
Ekikangabwa kino kyagudde ku kyaalo Wabiyinja e Masuliita mu disitulikiti ye Wakiso.
Kati ab’enganda z’abantu bano bagamba nti waliwo omugagga ayagala ettaka…
KKampuni y’empuliziganya eya Uganda Telecom yeetaga obuwumbi 65 okudda engulu oba ssi kkyo mu nnaku nkaaga ejja kuba eggaddewo
Kkampuni eno nga Uganda egirinamu omugabo ne Libya ezze egwa era nga kati amabanja g’erina tegakyasobola kukola mirimu
Akulira olukiiko olutwala kkampuni eno Steven Kaboyo ategeezezza ababaka mu palamenti ategeezezza nti tewakyaali kunaanya kkampuni eno egenda era nga…
Ekisakaate ky’abaana ba Buganda ekitambulira ku musingi gw'amasaza kiyingidde olunaku olw'okusatu nga kibumbujjira ku ssomero lya Royal Giant e Mityana mu ssaza lye Ssingo.
Ekisakaate kino kitambulidde ku mulamwa gw’okunyikiza enkolagana ennungi mu baana ssaako okulonda abakulembeze b'abasaakaate okusinziira ku masaza abaana bano gyebava.
Omubanguzi omukulu mu kisakaate ky'omulundi guno Rashid Lukwago, ategeezezza nti obuganda bumanyiddwa ng'obutambulira…
Eyali akulira bambega b’amaggye Gen David Ssejusa asabye wabeewo okusonyiwagana n’okwegatta emirembe bwegiba nga gyakubukala mu ggwanga
Sejusa bw’abadde ali ku kitebe kya UPC agambye nti gavumenti z’edda n’eriko zikoze ebikolobero biyitirivu kyokka nga kikyaamu okuwolera eggwanga
Ono era yetonze olw’ebikolebero ebyakolebwa amaggye mu biseera by’okulwanyis aomumpembe Yosefu Kony.
Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi avuddeyo n’awolereza gavumenti ku nkyukakyuka mu mateeka g’ebyokulonda ezaaleteddwa
Ono agumizza abantu nti akakiiko akalondesa kakwetengerera ng’era bwekyeyolese mu nongosereza ezaleeteddwa
Ssinga ebbago lino liyita, akakiiko akalondesa kakukyusibwa erinnya kyokka ng’era okulonda abakaliko kwakukolebwa omukulembeze w’eggwanga
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Ssekandi agambye nti ekikulu beebantu abalondebwa ku kakiiko ssi kirala.
Ono agamba nti yadde…
Ekitebe ky’eby’obulamu ku disitulikiti ye Mukono balabudde ku bukyafu obuli luno naddala mu byalo ekitaddewo obweralikirivu abantu okubuuka n’ebirwadde.
Kino kyava ku lutalo lwokulwanyisa omusujja gwa Typhoid olwali ennyo mu bitundu byekibuga neberabira abomubyalo nabo okusomesebwa ku kabi akava mu bukyafu.
Bw’abadde ayogerako ne banamawulire ku kitebe kya disitulikiti eky’ebyobulamu, omumyuka w’akulira ebyobulamu mu disitulikiti Dr. Isaac…
Kyadaaki eddwaliro lye Magola health centre III in mu disitulikiti ye Tororo liddabiriziddwa
Ng’ayogerera ku mikolo gy’okuggulawo eddwaliro lino, minisita akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi alabudde abasawo ku kusika mu bantu ensimbi okubakolako
Opendi agambye nti eno y’ensong esinga okugoba abantu mu malwaliro nebaddukira ku basawo b’ekinnansi.
Asabye abakulembeze mu kitundu okukunga abantu bagende…