Akakiiko ka palamenti akakola ku byuma bikali magezi ne tekinologiya kagaala gavumenti yeddize kkampuni y’essimu eya UTL
Kiddiridde kkampuni eno okulemerwra okutuukiriza ebiruubirirwa ebyassibwaawo akakiiko akakola ku byempuliziganya nga kati ebanjibwa obuwumbi obukunukkiriza mu 13 byempuliziganya nga kati ebanjibwa obuwumbi obukunukkiriza mu 13
Ssentebe w’akakiiko kano Vincent Bagiireagamba nti ssinga gavumenti yezza kkampuni eno nga Rwanda bweyakoze, ejja…
Ng’ebula emyezi kkumi eggwanga libe n’okulonda okw’awamu, poliisi yeetaga obuwumbi 204 .
Zino zakukola ku bya kwerinda mu biseera by’okulonda
Ng’alabiseeko mu kakiiko akakola ku by’okwerinda, minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. Aronda Nyakairima agambye nti balina bingi eby’okukola ebitannaba kukwatibwaako kale nga betaaga okutandika okutambula.
Nyakairima agamba nti waliwo emiwaatwa mu by’ensimbi ekiyinza okukosa eby’okwerinda
Aronda…
Okukyala kwa papa Francis wano mu ggwanga kuli mu lusuubo yadde nga bannayuganda bangi bakwesunga.
Okusinziira ku lukiiko olutwala abasumba mu Uganda papa alina emirmu mingi egimulindiridde okuva mu gw’omukaaga okutuuka mu gw’ekkumi nga era wakutegeka olukungaana lw’abasumba mu nsi yonna mu Vatican.
Ssabawandiisi w’olukiiko luno Msgr John Kauta agamba okuva ku by’okutebereza, n’omubaka wa papa wano…
Omuwendo gwabannayuganda abakwatibwa omusujja gw’ensiri gukenderedde cddala.
Okusinziira ku kunonyereza okwakoleddwa wakati w’omwaka oguwedde ne guno abakwatibwa omusujja gw’ensiri wano mu Uganda bakendedde okuva ku bitundu 42% mu 2009 okudda ku bitundu 9 byokka.
Okunonyereza kuno era kulaze nti yadde nga omusujja gw’ensiri gwegukyasinze okutta bannayuganda , abantu batono kati abagulwala.
Bw’abadde afulumya alipoota eno, omu ku bakugu…
Poliisi e Ssembabule eriko abantu 15 bekutte okuli n’omukuumi ku by’okunuuna amafuta okuva mu bimotoka ebiri mu kuzimba oluguudo oluva e Kanoni okudda e Sembabule.
Abakwate bano abatanategerekeka kuliko abavuzi ba biloole nga abalala bakozi ba kampuni y’abachina enzimbi y’oluguudo eyaweebwa omulimu gw’okuzimba oluguudo luno.
Noah Sserunjogi nga ono y’ayogerera poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga ategezezza nga…
Omujulizi wa gavumenti ku musango oguvunanibwa eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye abivuddemu.
Donatus Eguma ategezezza nga bwewaliwo abakungu ba gavumenti abamutiisatiisa okulumiriza Besigye ne banne.
Dr Besigye avunanibwa ne loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago, meya wa Kawempe Mubarak Munyagwa , akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe n’abalala nga bavunanibwa kukuma muliro…
Abasawo abanafu tebajja kuba na bifo Mulago ng’eddwaliro lino limaze okulongoosebwa
Bino byogeddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago
Dr Lukwago agambye nti eddwaliro lino bagaala kuliteeka ku mutindo gw’ensi yonna kyokka nga kino kijja kutuukikako ng’abasawo tebasooba.
Bino yabyogedde aggalawo omusomo gw’emyezi omukaaga eri abasawo n’abaddukanya eddwaliro lino erye Mulago n’amalwaliro ga gavumenti mu kampala.
Kyokka…
Abavumirira abakyala abayambulidde ba minisita olw’enkaayana z’ettaka balabuddwa okukikomya.
Ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu bitundu bya Acholi Reagan Okumu agamba abatuuze balina eddembe okwekalakaasa ku nsonga ezibaluma.
Wiiki ewedde waliwo bannamukadde abakyala abeyambudde engoye zonna nebasigala buswa mu maaso ga minisita w’ebyettaka Daudi Migereko n’owensonga zomunda w’eggwanga Aronda Nyakairima nga bawakanya eky’okulamba ensalo wakati wa disitulikiti ya…
Enkuba eyamwaanyi ebaddemu nekibuyaga eree amaka agawerako gali ku ttaka nga n’ebirime mu nimiro nyingi byononeddwa mu gombolola ye Kamonkolo subcounty mu disitulikiti ye Budaka .
Ssentebe w’egombolola ye Kamonkoli Edinandi Piringo agamba emiruka ena okuli Kamonkoli, Nyanza, Kiraka ne Sekulo gikoseddwa sso nga ebyalo 7 abaayo bali mu maziga.
Ono atidde nti enjala ani amuwadde akatebe…
Ebya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga obutasimbibwako Muntu yenna ku kifo ky’omubaka omukyala e Kamuli bigaanye.
Nga waakayita mbale nga ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Salam Musumba ky’ajje asembe Kadaaga okwesimbawo awatali amu amuvuganya waliwo eyesowoddeyo okumusuuza omugaati.
Eyali omukozi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo Deborah Mwesigwa w’owulirira bino nga y’atongozza dda kawefube w’okwesimba ku Kadaga.
Mukyala Mwesigwa ategezezza nti…