Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Yaka atuuse mu malwaliro

Minisitule ekola ku byobulamu etegeezeza nga bw’egenda okubunya enkola y’amasanyarlaze ya yaka mu malwaliro gonna okusobola okukendeeza ku nkozesa y’amasanyalaze mu malwaliro gano. Minisita e’ebyobulamu akola guno na guli  Dr. Elioda Tumwesigye atugambye nti kino kigendereddwamu kumalawo kizibu kya nsimbi z’amasanyalaze n’amazzi okwetuuma. Tumwesigye agamba biiru z’amasanyalaze mu malwaliro gaabwe ziri waggulu songa ensimbi zikyabekubya mpi .  

Read More

Omubbi w’enkoko atuyaanye

E Rakai Abasajja 2 bawonye okugajambulwa abatuuze lwakubba nkoko omu n’awayo n’amakage awone akaduukulu. Joseph Ssegawa ne Martin Sseruwuge bonna nga batuuze ku kyalo Lusese bebawonye okugajambulwa oluvanyuma lw’okusamgibwa n’eminyonyi gino egiteberezebwa okuba emibbe. Kigambibwa nti bano baamenye ekiyumba kya mukyaala  Annet Namatovu eky’enkoko nebabbamu enkoko 7 ekyamuwalirizza okwekubira enduulu mu baliraanwa abaatandise omuyigo nebagwa ku bano…

Read More

Besigye alya butaala- ogumu ku misango gye gugobeddwa

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye ne banne abalala balya butaala. Kkooti ya Buganda Road egobye omusango ogubadde gubaleppusa ogw’okukuba enkugaana ezimenya  amateeka. Omulamuzi wa kkooti eno  Lillian Bucyana ategezezza nga oludda oluwaabi bwelulemeddwa okuwa obujulizi obulumika abantu bano. Besigye abadde avunanibwa ne loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago, meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa ,akulira abakyaala…

Read More

Aba FDC batabuse ku muntu waabwe eyakwatiddwa

Ab’ekibiina kya FDC batadde gavumenti ku ninga eleete mangu omuyambi w’eyali ssenkagale w’ekibiina kyabwe Dr. Kiiza Besigye mu kkooti. Sam Mugumya y’akwatibwa wiiki ewedde e Congo lwakwetaba mu bikolwa by’ekiyeekera. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga  Paddy Ankunda agamba  Mugumya kigambibwa nti aliko ekibinja ky’abayeekera kyakwataganye nakyo okwagala okuvunika gavumenti. Kati ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC  Alice Alaso agamba omuntu waabaw esibiddwa…

Read More

Ekidyeri tekitambula

Abatuuze mu disitulikiti ye Kalangala beecanze lwakidyeri kibatambuza okufa. Ekidyeri kino ekya MV Amani kyekibadde kisaabaza abantu wakati wa Entebbe ne Kalangala oluvanyuma lw’ekya  MV Kalangala okutwalibwa e Mwanza okukanikibwa. Omugoba w’ekidyeri kino Michael Okwalinga ategezezza nga ekidyeri kino bwebakiyimirizza nakyo oluvanyuma lw’okufa. Omubaka w’ekitundu kino mu palamenti  Fred Badda kati atadde ku ninga minisita w’ebyentambula  Abraham Byandaala…

Read More

PLE atandise- awamu bakereeye

Nga ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo bikyagenda maaso,waliwo omusomesa akwatiddwa poliisi y’e Nateete ku bigambibwa nti yabbidde abayizi ebibuuzo. Ono  nga musomesa ku ssomero erimu e Nateete  kigambibwa nti ekiro y’asangiddwa nga asomesa abayizi n’empapula ezigambibwa okubeerako  ebibuuzo byenyini ebituuliddwa amakya galeero. Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano  Patrick Onyango agamba omusomea ono…

Read More

Uganda nyweevu- Gavumenti ku Burkina Faso

Uganda ekakase mu demokulasiya nga gavumenti tesobola kuvuunikibwa nga bwebyabadde mu Burkina Faso. Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso yavuunikiddwa mu lunaku lumu oluvanyuma lw’okwagala okweyongeza ekisanja yadde ng’abantu be abafuze okumala emyaka 27. Omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku nsonga z’ebyobufuzi Moses Byaruhanga agamba nti abantu abalowooza nti ebyabadde mu Burkina Faso byandituuka wano basaaga Byaruhanga agambye nti Uganda…

Read More

Kimuweddeko

Mu ggwanga lya China omukyala ayagadde okukakasa oba bba tamulekeewo nga bakaddiye amalidde mu maziga Omukyala ono abadde agenda okugattibwa ne bba asazeewo bamusseeko make up amufuula omukadde era nebakimukolera Omugole omusajja olumukubyeeko eriiso n’ava mu mbeera n’atandika okuyomba era nga yyo embaga wetwogerera esaziddwaamu

Read More

Diego Costa akomawo mu kisaawe enkya

Muyizi tasubwa wa Chelsea Diego Costa akomawo enkya mu kisaawe mu mupiira wakati wa Chelsea ne QPR olunaku lw’enkya Bino byogedde maneja wa Chelsea Jose Mourinho. Diego eyakateeba goolo mwenda mu mpaka za puliya liigi musanvu asubiddwa emipiira ena oluvanyuma lw’okufuna omuvune ku mukono. Okubulawo kwe ne Remmy kwaleka Didier Drogba ng’atoba yekka mu mipiira egibaddewo

Read More

Omukulembeze wa Burkina Faso avuunikiddwa

Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso Blaise Compaore avuunikiddwa. Ono avuunikiddwa abantu abatandise okwekalakaasa olunaku lwajjo nga bawakanya ekya pulezidenti waabwe okubafuga emyaka 27 ate n’ayagala okweyongeza ekisanja. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga y’alangiridde eri abeekalakaasi nti pulezidenti takyaali mu ntebe Omukulu ono nno yasoose kutegeeza nga bw’atajja kuva ku ntebe n’asaba bamuweeyo emyezi 12 okuddukanya gavumenti y’ekiseera . Wabula abavuganya nga…

Read More