Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

E Makerere bazzeemu okwekalakaasa

Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere  bazzemu okwekalakaasa. Kuluno ekibagye mu mbeera kwekumala ebbanga lya wiiki 2 nga tebasoma. Abayizi abakozeseddwa beebakola amasomo ga kompyuta agawerera ddala mukaaga Bagamba nti abasomesa basalawo obutasomesa okutuuka nga basasuddwa ekintu ekikosezzaamu bbo. Yye atwala poliisi ye Mkarere  Jackson Mucunguzi agamba nti ogwaabwe gwakulaba nti abayizi teboonoona bintu nga basazeewo obutakozesa maanyi kubanga…

Read More

Abantu b’omutanda banajjanjabwa

Ab’ebyobulamu abali eyo  mu 80 bebayunguddwa  okujanjaba abantu ba beene nga twetegekera olunaku lw’ebyobulamu olutegekeddwa nga 29 November. Kino kibukuddwa ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’olunaku luno Dr Musisi olugenda okubeera mu ssaza lya ssabasajja erye Buddu mu lukungaana olukubiriziddwa omwogezi w’essaza lino Dick Lukyamuzi Ssenyondo. Dr Musisi agamba enteekateeka eno yakukulungula wiiki namba nga abantu ba beene bajanjabibwa…

Read More

Kanyonyi akasimbye ku bbaala

Omusajja abadde avuga enyonyi enyonta y’omwenge n’emukwata, agisimbye wabweeru wa baala olwo neyewaamu Omusajja ono enzaalwa ye Australia olumaze okugisimba, yesozze ebbaala n’anywamu Poliisi nno ayanguye okumussaako kawunyemu kyokka ng’ayiseewo . Ekyewunyisa omusajja ono agambye nti talina bbaluwa evuga nyonyi kyokka takoonangako

Read More

Ebigezo bigenze mu maaso- awamu bikereeye

Omusajja ow’emyaka ataano awunikirizza bangi bw’asizza ensonyi  ku mabbali n’atuula ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu Awali Tezikuba atudde ne muwala we Janat Mukisa ow’emyaka 13 Bano batuulidde ku ssomero kya Bufulubi Primary School Mayuge gyebabadde basomera Okwawukanako ne muwala we abadde asomero ku ssomero lino okuva mu kibiina ekisooka, omusajkja ono ow’abaana 19 yegatta ku ssomero lino mu kibiina ky’omukaaga Tezikuba…

Read More

Abakinjaaji batabuse

Abasuubuzi abakolera mu lufula y’eggwanga enkulu  balayidde okusula ku mirimu kutuuka ng’enkayaana ku ttaka lyaabwe ziweddewo Kino nno kiddiridde KCCA okulagirwa okweddiza lufula eno okutuuka ng’abasuubuzi ne Basajjabalaba bakkiriziganyizza Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi, Muhammad Nsubuga agamba nti bazze nga batiisibwatiisibwa abantua batategerekeka  ekireseewo okutya nti bano bandiyagala okubagoba Nsubuga agamba nti beetegefu okukolagana ne KCCA ku nsonga z’emisolo naye…

Read More

Omukyala yebakidde omwana

Poliisi eriko omukyala gw’etutte mu dwaliro lya batabufu b’emitwe okukeberebwa lwakwebakira mwana we ow’emyezi ebiri n’ekitundu n’amutta Esther Nansubuga nga mutuuze we Nsambya Gogonya yeyeebakidde omwana we Joseph Kasasira mu budde bw’ekiro n’afa ekiziyiro Ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango atubuulide nti maama wa Nansubuga akakasa nti muwala we alina ekizibu kumutwe,wabula nga kino tebayinza kukikaksa…

Read More

Omuyiz asibiddwa emyaka munaana

Omuyizi ku ttendekero lya Cavendish University asibiddwa emyaka munaana lwakukusa bantu Annette Umutoni yawamba abawala abato babiri n’abatwala mu maka ge olwo n’abakozesa nga bw’ayagala Abawala bano yabajja Kigali Rwanda ne Ntungamo Omuyizi ono okukola kino yatuuka mu maka g’abazadde b’abaana bano n’abasuubiza nti wakubafunira emirimu mu supamaketi mu kibuga Wabula bweyabatuusa mu kibuga yatandika okubakozesa emirimi gye waka…

Read More

Okusala amasavu kitangira sukaali

  Okusala amasavu kuyamba okukendeeza obulwadde bwa sukaali Abanonyereza balondodde abantu abasoba mu 5000 okukakasa oba ddala kino kituufu Bano bakizudde nti omuntu buli lw’agejja n’amasavu geeyongera era gyebigweera nga sukaali amukubye akalippo. Sukaali ono ava ku mugejjo takoma ku kino era ng’avaamu n’omuntu okufa amaaso kubanga akosa n’emisuwa

Read More

Temuboola balina Ebola

Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Ban Ki-moon avumiridde eky’okuboola abasawo abakola ku balina endwadde ya Ebola mu bugwanjuba bwa Africa Ono agamba nti mu kadde kano amawanga mangi agalina abasawo mu mawanga gano bwebadda ewaka babawula ku bantu kyokka nga mu kaseera kano abasawo bano bamugaso ddala Ono era agambye nti kibalumye nti baakola kitono mu…

Read More