Abalwanirizi b’eddembe ly’omuntu bagamba nti gavumenti tekoze kimala kutangira ntalo za mawanga mu bitundu bye Rwenzori
Entalo zino eziri wakati wa abakonzo n’aba bamba zaaleka abantu abasoba mu kyenda nga balusuddem akaba
Mu kiwandiiko ekissiddwaako omukono gw’omunonyereza mu kibiina kya Human rights watch, Maria Burnet agambye nti gavumenti yandibadde enonyereza okuzuula wa awaava obuzibu n’engeri y’okubwewalamu nate.
Bano…
Gavumenti esabiddwa okukola ennyo okukyuusa ku mbeera z’abakyala
Ab’ekibiina ekigatta abakyala abasuubuzi, bagamba nti abakyala bangi bakyasanga obuzibu bungi mu kwewola ensimbi okwetandikirawo emirimu ekibalemesezza okwekulakulanya
Akulira olukiiko olufuga ekibiina kino Hope Jemimah Kasimbazi agambye nti gavumenti yandibadde esalawo nti ensimbi eziweza ebitundu 50 ku kikumi eza NAADS ziweebwe bakyala
Abakyala bano banjizza enteekateeka zaabwe ez’omwezi guno nga…
Olusisira lw’ebyobulamu olugenda mu maaso mu ssaza laya Ssabasajja lujubiddwa.
Olusiisira luno luyindira ku mbuga lye ssaza wakati mu kwetegekera olunaku lwa Bulungi bwansi olugenda okukuzibwa nga 8 omwezi guno.
Minisita w’ebyobulamu mu bwa Kabaka bwa Buganda Dr. Ben Mukwaya agambye nti endwadde omuli omusujja, endwadde eziva ku bisolo wamu n’okulya obubi zeezisinga okujanjabibwa.
Dr Mukwaya agambye nti …
Abakulembeze okuva mu Ghana, Nigeria ne Senegal bakyaddeko mu ggwanga lya Burkina Faso okwongera okusindikiriza amaggye okukwasa abantu obuyinza
Ab’omukago gw’amawanga ga Africa bagamba nti amaggye gamenye mateeka okuwamba obuyinza okuva ku bantu abasindikiriza Blaise Compaore eyalia maamidde obuyinza.
Abantu beekyaawa nebagoba omukulembeze waabwe nga bamulanga kubeesibako ng’ate bamukooye
Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Micho ayise abazanyi 26 mu kutendekebwa okutunda akawungeezi ka leero e Namboole nga Uganda yetegekera omupiira ogwomukwano ne Ethiopia ku Sunday eno nga 9th .
Abapya kubayitidwa kuliko Jamal Salim nga ono mukwaasi wa goal okuva mu team ya El Merrikh mu Sudan ne Keziron Kizito okuva mu team ya…
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti buli Muntu lweyetakula yeeyongera okusiiyibwa
Okunonyereza okukoleddwa mu mmese kulaga nti buli Muntu lweyetakula anafuya olususu olwo nelwongera okumusiiwa
Abakugu mu ndwadde z’ensusu bagamba nti kino kigenda kubayamba okuzuula lwaki eddagal etuufu ery’okukozesa ku bantu abasiiyibwa emibiri
Omuwendo gw’abalwadde abalina endwadde ezitawona nga beetaaga obujjanjabi obwenjawulo bweyongedde Okusinziira ku kibiina ekibudabuuda abalina endwadde ezitawona ekya Hospice Africa Uganda , abalwadde abali mu 250 beebetaaga okuyamba Omukulu mu kibiina kino Dr. Eddie Mwebesa agamba nti ku bano, ebitundu kkumi bokka beebayambiddwa Mwebesa agamba nti abasinga ku balwadde bano balina mukenenya, kokoolo ne sukaali.…
Okugezesa eddagala eriyinza okujanjaba Ebola ku kutandise mu ggwanga lya Switzerland mu kibuga Lausanne.
Eddagala lino lyakoleddwa abakampuni enkozi ye ddagala eya Glaxosmithline nga era abantu 120 bewaddeyo mu kugezesa eddagala lino.
Ebola yakatta abantu abasoba mu 5000 n’okusingira ddala mu bugwanjuba bwa Africa.
Ekitongole ky’ebyomutindo gw’ebyamaguzi mu ggwanga kitiisizza okuggalira ddala ekkolero lya House of Eden Beverage nga bano bebakola ekyokunywa kya Safi eryagalwa aba KCCA.
Bano baggalwa lwabigambibwa nti bakozesa ebirungo ebyayitako mu kukola eby’okunywa okuli Safi n’amazzi ga Azur.
Kati akulira ekitongole kino Ben Manyindo ategezezza nti okujjako nga baggye ku katale ebyokunywa byabwe ebirimu ekirungo kya Carmosine…
Abakulembeze ba disitulikiti ye Kalungu baziriridde omubaka omukyala ow’ekitundu kino emikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyaala nga bagamba gitegekeddwa mu budde bukyamu.
Emikolo gino gyategekeddwa omubaka w’abakyala mu Kitundu kino Florence Kintu wali ku Yesu Akwagala Primary school wabula abakulembeze omuli ne bakansala nga bakulembeddwamu ssentebe wa disitulikiti eno Emanuel Musoke nebajimuziririra yadde nga baayotiddwa mu butongole.
Musoke agamba…