Poliisi ye Tororo eriko banansi b’eggwanga lya Somalia 3 bekutte nga basalinkiriza okuyingira eggwanga mu bukyamu.
Fatun Abdi Abdullah, Ali Abdi Mohammed, and Mohammed Abubakar Yusuf, beebakwatiddwa nga bayita ku mugga Malaba okwesogga Uganda.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo ategezezza nga bano bwebakwatiddwa poliisi nga eyambibwako abasimi b’omusenyu.
Kigambibwa bano baatoloka okuva mu nkambi…
Okwekalakaasa ku ttendekero e Makerere ssikwakuggwa kati.
Abayizi b’essomero ly’ebyenfuna ab’omwaka 3 beekalakaasa nga babanja ebyava mu bigezo byabwe byebagamba nti biruddeyo.
Abayizi bano bagamba nti kati gino myezi 2 nga tebaweebwanga alizaati zaabwe.
Wabula akola ku nsonga z'abayizi okuva ku ssomero lino Umar Kakumba akkakkanyizza abayizi n'abategeeza nga bwebagenda okukola ku nsonga zaabwe obutasukka lunaku lwa nkya
Kakumba…
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye kyaddaaki avuddemu omwasi ku muyambi we Sam Mugumya eyakwatibwa e Congo ku bigambibwa nti yetaba mu bikolwa by’ekiyekera.
Besigye ategezezza nga bino bwebiri eby’obufuzi nga kigendereddwamu kutiisatiisa bavuganya gavumenti nga okulonda kwa 2016 tekunatuuka.
Besigye agamba gavumenti ya Uganda ekikola mu bugenderevu okulemesa ab’oludda oluvuganya nga babasibako emisango gy’obuyeekera.
Ono…
Kkooti enkulu eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku kujulira kw’omusawo eyasingisibwa omusango gw’okukuba omwana empiso gyeyali yefumise nga ate alina siriimu.
Ensalawo eno eyongezeddwayo okutuusa nga 28 omwezi guno.
Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 3.
Ono abadde alabiseeko mu kkooti eno mu maaso g’omulamuzi labiseeko maaso g’omulamuzi Albert Frank Rugadya wabula omuwandiisi wa kkooti n’abategezezza nga omulamuzi…
Bannamawulire bamanyiddwa boogera kuno na kuli.
Wali obadde ku mpewo n’owulira ng’aliko akulimba
Kati mu ggwanga ya Bungereza, abadde ku mpewo asabye ettaka limumire bw’awakanya nti Ireland teri mu Bungereza
Ono akanyizza kweseesa majemulukufu naye nga tewali kyakuzza
Kati manyi bangi balowooza nti mbalimba
Ababaka babiri okuli Sozi Kaddu Mukasa ne Issa Kikungwe boolese okugobwa mu palamenti lwabutalabikako
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga amaze okuwaayo amannya g’ababaka bano eria kakiiko akakwasisa empisa okunyonyola lwaki tebakola mirimu gyaabwe.
Kaddu akiikirira bantu be Mityana mu bukiikaddyo ate Kikungwe we Kyaddondo mu bukiikaddyo
Kadaga agambye nti ababaka bano ababiri bayitirizza okwoosa ate nga tebamutegeeza…
Kkooti enkulu e Masaka egaanye okuyimbula kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka
Omulamuzi Margret Ouma Oguli agambye nti takakasa nti Lwakataka anaddamu okulabikako mu kkooti ssinga ayimbulwa
Omulamuzi era agambye nti omukulu ono asobola n’okuyingirira okunonyereza kwaabwe n’atta omusango.
Bannamateeka ba Lwakataka babadde basabye nti omuntu waabwe ayimbulwe kubanga alina obulwadde obuzibu nga yeetaga kujjanjaba
Bano nga bakulembeddwaamu…
Akakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo kagaala pulezidenti ave mu maka ge agamu gaweebwe omumyuka we
Amagezi gano gaweereddwa abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi abalabiseeko mu palamenti okunyonyola ku alipoota wa ssababazi w’ebitabo bya gavumenti
Ababaka ku kakiiko kano akakulirwa Alice Alaso bagambye nti kikwasa ennaku nti ensimbi za mirundi ebiri ezisasanyizibwa ku…
Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe basula emitima gibewanise ngabalumiriza nti waliwo ababatiisatiisa okubatta
Bano nga bakulembeddwaamu ssentebe w’abasuubuzi Joseph Lwanga bagamba nti bano baamaze dda okubalumbako nga bagaala kulumba ofiisi zaabwe
Bino byonna bisibuka ku mpooza KCCA gyeyawera kyokka abakulembeze ba SLOA nebagiremezaawo
Wabula yye omwogezi wa SLOA, Wilberforce Mubiri bino abiwakanyizza era nga aboogera bino abayise…
Abasuubuzi abakkakalabiza egyaabwe ku kizimbe kya Shumuk ekyaali kimanyiddwa nga Katatumba bazina gunteese
Kiddiridde nanyini kizimbe kino Bonny Katatumba okulangirira nga bw’agenda okubasalira ku z’obupangisa
Kkooti etawuuluza enkayaana z’obusuubuzi olunaku lwajjo yalagidde nti Katatumba addeyo mu kizimbe kye kubanga Shumuk Mukesh yali yakitwala mu bukyaamu.
Katatumba agamba nti amaze okukwatagana ne balooya be okulaba nti akendeeza ku basuubuzi…