Abantu 10 beebafiiridde mu bbomu ebalukidde ku kyuuma ekiwanda ensimbi kiyite ATM mu ggwanga lya Nigeria
Abafudde bonna babadde mu lukalala nga bagenda kujjayo nsimbi.
Abadde ne bbomu eno kigambibwa okuba ng’abadde agikwatidde mu baasa era n’atuuse ku bantu n’agibalula
Omutendesi wa tiimu ya Machester United Luis Van Gal agamba nti kijja kutwaala emyaka 3 manchester okudda ku ntikko gyeyali
Ono abadde ayanukula ku mupiira wakati wa Man United ne Man City nga guno bamukuba emu nga takutteeyo
Van Gal ow’emyaka 63 agamba nti lugendo okuzza United ku ntikko era nga lulina entandikwa kyokka nga lujja kuggwa
Ono…
Abantu ababadde bakungaanidde ku lubalama lwa Mayanja nga bali bukunya babunye emiwabo oluvanyuma lw’eryaato okuyingizaawo abantu nga balina obubonero bwa Ebola
Abantu bano babadde 16 nga bafirika okuva mu bugwanjuba era nga bagobedde ku mwaalo gwa masipalomas ogusangibwa mu ggwanga lya Spain
Ababadde mu kuzannya nga bali bukunya banoonyezza engoye zaabwe okwambala badduke oluvanyuma lw’okulaba ab’ekitongole kya…
Abakozi ba Kampuni ya monitor Publications olwaleero bongedde amaanyi mu kawefube w’okutumbula eby’obulamu mu ggwanga. Abakozi nga bakulembeddwamu akulira kampuni ya Monitor Alex Asiimwe wamu ne ssabapoliisi Gen Kle Kayihura benyigidde mu kuyonja ebitundu bye Nsambya naddala mu barracks ya Poliisi e Nsambya. Bano era bawaddeyo n’akayumba eri poliisi eri ku ttendekero lya Makerere Univerity…
Poliisi ye Bukomansimbi eriko omuserikale waayo gwekutte lwakutamirukuka nga ali ku mulimu.
Silver Baligonja nga y’atwala poliisi ye Butenga y’akwatiddwa ku biragiro by’akulira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.
Kaweesi okusalawo bwati kyaddiridde okulambula ebitundu bye Bukomansimbi n’azuula nga abasinga ku basajjabe bwebatamirukuka nga bali ku mirimu.
Ono agamba ssikyamumpisa era kimenya mateeka ofiisa wa poliisi…
Poliisi ye Lwengo eriko maama ow’emyaka 25 gwekutte lwakwokya muwalawe ow’emyaka 7 mu mbugo n’ekisiki ky’omuliro nga amulanga kusirika nga bamusobezzaako.
Cathy Nakitto alumiriza muwalawe okusirika obusirisi nga akalenzi k’emyaka 9 kamusobezzako era olw’obusungu n’amuteeka ogw’omukyoto mu mbugo.
Anonyereza ku misango ku poliisi eno Sofia Neboshi agamba ebitundu by’ekyama eby’omuwala ono byayokeddwa nnyo nga yandyetaaga okulongosebwa.
Ono avumiridde…
Omusajja avuze emmotoka butereevu okutuuka mu bbaala webasabira omwenge n’asaba eky’okunywa
Gordon Milligan tatawaanye kusiba kuva mu motoka eno ng’ayiseewo buyisi n’emotoka ye okutuuka munda olwo n’asaba bamuwe ka bbiya
Ababadde mu baala bakanyizza nduulu na kubuna miwabo naye ng’omusajja abayisaamu mmotoka
Kkyo ekizimbe mw’alese alese kiyiise era nga nyini kyo mu kifo ky’okuwereeza bbiya ayise poliisi ekutte…
Omuyimbi Desire Luzinda aludde ddaaki neyetonda olw'ebifananyi bye eby'obuseegu ebyafuluma
Mu bbaluwa gy'atadde ku mikutu gwa YIntaneti ogwa Facebook, Luzinda agambye nti ebifaananyi bino byasasanyizibwa omwagala we gw'aludde ebbanga ng'amwesiga , wabula n’amwefuulira.
Ono akakasizza nti kyamazima ebifanannyi bino yabyekubisa mu kyama nga omuntu yenna omulala, wabula ng'okusaasana kwabyo kumuleetedde okuswala ng'omuzadde ate omuyimbi alina abagoberezi
Desire agamba…
Abavubuka mukaaga abegattira mu kibiina kyabwe ekyabatalina mirimu ekya Jobless Youth basindikiddwa ku alimnda e Luzira.
Omulamuzi wa kkooti ya city hall Elias Kakooza asazizzamu okweyimirirwa kwabwe lwabutalabikako olutuula olwaggwa nga tebawadde nsonga yonna.
Bano kuliko Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja nga kati baakudda mu kkooti nga 4 December okutandika okuwulira omusango gwaabwe.
Bano bavunaanibwa gwakulinyirira palamenti n’okusalimbiira…
Mu mawulire ag’ennaku omulangira David Ssimbwa aseeredde.
Omulangira afiiridde mu ddwaliro e Nakasero gy’amaze ebbanga nga ali bubi.
Omwogezi w’obwakabaka bwa Buganda Denis Walusimbi akakasizza okuseerera kw’omulangira era n’ategeeza nga olukiiko olw’enjawulo bwerugenda okuyitibwa okutegeka amaziika.
Omulangira abadde atawanyizibwa obulwadde bwa pulesa n’ekirwadde ky’omutima .
Omulangira Ssimbwa y’abadde taata wa ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi asigaddewo
Omulangira ssimbwa eyazaalibwa mu…