Kampala capital city authority alabuddwa ku kuwera emizigo mu kibuga nga terina mulaani ngundiivu
Omubaka we Ndorwa mu buvanjuba Wilfred Niwagaba agamba nti KCCA yendipapiriza okukola kino nga terina na w’eteeka bantu
Niwagaba agamba nti n’amateeka genyini tegawera mizigo
KCCA yalangiridde enteekateeka ewera muzigo gumu, ebiri ng’eyagala abazimba mu kibuga batandikire ku kalina
Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza ku musuubuzi ayakubiddwa amasasi agaamusse
Charles Lwanga ng’emirimu abadde agikkakkalabiza ku kizimbe kya Mabirizi baamusse adda waka
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omugenzi yabadde atambula n’omukyala agambibwa okuba muganzi we kyokka nga yabuze amangu ddala ng’amutuusizza mu ddwaliro
Onyango agamba nti kati bayigga mukyala ono okwongera okubanyumiza ebyabaddewo.
Ebadde ntiisa e Mijwala Sembabule, omukulembeze w’essomero bw’agudde mu kidiba ky’amazzi n’afiiriwo.
Vincent Ssenganda nga y’abadde akulira essomero lya Garden of Hope Secondary schoolabadde agenze kuwuga mu kidiba
Maama w’omugenzi, Florence Mukambi nti yabadde agenze n’abayizi okukuba amataffaali kyokka n’asikirizibwa, kwekuwugamu.
Omu ku batuuze Ahmed Dembe agambye nti tebalina poliisi yaku mazzi mu kitundu kino ng’omwami ono yandibadde…
Abayizi bataano aba siniya y’omukaaga tebakoze bigezo ebitandise olwaleero
Abayizi bano bonna nga bava mu ssomero lya Mbale secondary school tebalabiseeko nga kigambibwa okuba nti balwadde.
Abasatu tebakoze kigezo kya Biology ate ababiri tebakoze kigezo kya Economics.
Akulembeddemu okukuuma ebigezo, Bernard Nakisa agambye nti ategeezeddwa nti abayizi balwadde
Ate ku ssomero lye Nkoma ss, ebigezo bitambudde bulungi era ng’abayizi…
Eggwanga lyakulangirirwa nti liweddemu ekirwadde kya Marburg ssinga tewabaawo Muntu mupya afuna obulwadde buno mu nnaku ssatu
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti kati ennaku ziweze 30 nga tewali Muntu mupya yaafunye kirwadde kino
Dr. Lukwago agamba nti abantu abataano bebaali balondoola babakebera nga tebalina kirwadde kino era nebasiibulwa
Mu nkambi zonna ezassibwaawo ez’abantu…
Mu ggwanga lya Buyindi amaloboozi agasaba nti abakyala bongerwe okuyambibwa nga bali mu nsonga zaabwe geyongedde
Mu ggwanga lya Buyindi, abakyala baboolebwa nga bali mu nsonga era nga tebakkirizibwa kufumba yadde okugenda mu masinzizo
Ababbaboola bagamba nti mu nnaku zino omukyala abeera mujama, mulwadde era ng’abaako n’ebisiraani.
Beebamu bano bagamba nti omukyala ali mu nsonga tebalina kunaaba era…
Abakugu bakizudde nti omuntu asobola okuwuliriza ebintu ebikaawa, ebirimu omunnyo, ebibalaala n’ebiwooma omulundi gumu
Buno babituseeko oluvanyuma lw’emyaka nga banonyereza era nga bigenda kuyamba okumalawo okukaayana ng’abamu bagamba nti obwongo tebusobola kuwuliza bintu bino
Basanguddewo n’ebigambibwa nti entikko y’olulimi yeeyokka ewuliza ebiwooma.
Abakugu okuva mu yunivasite ye Colombia bagamba nti buli kirina empooma kirina omusuwa gwaakyo mu bwongo…
Banaggagga 10 batonzeewo ensawo enayamba abantu abakoseddwa ekirwadde kya Ebola
Bano basisikanye mu ggwanga lya Ethiopia era nebasondawo doola obukadde 28 ezigenda okuyamba okusindika abasawo mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia.
Abakugu bagamba nti obulwadde buno basobodde okubwetoloola nga kati kufuba kujjanjaba ababulina n’okutaayiiza abatannabufuna
Abantu abali mu 5000 beebakafa ekirwadde kino kw’abo omutwalo egumu mu…
Poliisi eyiiriddwa okwetolola ofiisi z’ekibiina kya FDC e Najjanankumbi oluvanyuma lw’okukitegeerako nti abavubuka b’ekibiina kino bagenda kutongoza kawefube w’okwekubya ebifananyi nga tebambadde masaati.
Bano baagala omuyambi w’eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye’s, Sam Mugumya aleetebwe mu kkooti oluvanyuma lw’okukwatibwa mu ggwanga lya Congo ku bigambibwa nti yali yetaba mu bikolwa by’ekiyekera.
Omusasi waffe Herbert Zziwa atutegezezza…
Omulangira David Ssimbwa eyaseerera wiiki ewedde asuubirwa okuterekebwa olunaku olwaleero wali ku masiro e Kasubi.
Wabula nga obuwangwa bwebulambika , ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi siwakuziika kitaawe ono kubanga Kabaka Taziika.
Olunaku olweggulo pulezidenti Museveni yatuuseeko mu maka g’omugenzi e Kabowa n’akungubagira omugenzi.
Pulezidenti yategezezza nga ssimbwa bwabadde omulangira, omuganda ate munnayuganda nga y’ensonga lwaki yasalawo okukolagana naye.
Ono…