N’okutuusa kati abakulira ettendekero lye Kyambogo tebanasasula nsako y’abasomesa nga ebula ennaku 2 zokka nsalasale eyatekebwawo abasomesa okuteeka wansi ebikola okutuuka.
Abasomesa bano abasoba mu r 700 baawa abakulira ettendekero lino okutuusa nga 14 November nga basasudde ensako yaabwe ey’emwezi 2 egiyise oba sikyo bekalakaase.
Akola nga kyansala w’ettendekero lino Prof Elly Katunguka agamba bakyakunganya mpapula abasomesa…
Kizuuliddwa nga amassomero gomukampala ebitundu 39% mu Kampala bwegatali mu bitabo bya minisitule y’ebyenjigiriza nga era tegamanyi.
Kampuni ya Agile Learning Company yakoze okunonyereza mu disitulikiti ye Wakiso ne Kampala nekizulibwa nga amasomero 1500 bwegatamanyiddwa.
Okunonyereza kuno kwagendereddwamu kumalawo massomero n’abasomesa abempewo.
Okusinziira ku kunonyereza kuno ,1200 gali wakiso nga ggo 320 gali mu kampala sso nga 17…
Kubamu akafanyi ng’olaba fiirimu yo nga neyiba wo ali ku ssimu ye azannya naye ng’akuwogganira
Kati omusajja abadde atudde okumpi n’omukyala n’amusaba okulekera awo okumuwogganira n’agaana alifa tazzeemu kutawaanya bakola byaabwe
Omukyala ono mu ngeri y’okwekaza, ajjeeyo kamulali mu nsawo ye n’amukuba omusajja ono mu maaso ng’amulanga kuyingirira ddembe lye
Omukyala ekyewunyisa nti yadde buli omu abadde asaasira…
Poliisi eyitiddwa bukubirire era neyebulungulula ekizimbe omubadde muva amaloboozi buli g’alowoozezza nti ga Muntu alumbiddwa ababbi
Nga bamaze okwetoloola, bafunye kizindaalo nebalagira ababbi okufuluma mu bwangu
Kibabuseeko okutuuka munda nga waliwo omusajja eyezannyira omuzannyo gwa chess nga y’abadde anyumirwa akazannya
Bino bibadde mu ggwanga lya Norway.
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiggadde ekizimbe kya Forest Mall
Ekizimbe kino yadde kimaze emyaka egisoba mu ebiri tekirina permit kukola
Ekizimbe ekyogerwaako kisangibwa Lugogo okumpi ne Game
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bannanyini bizimbe bonna balina okubeera n’ekiwandiiko ekibakkiriza okukola emirimu egitabaddeewo
Bino bizze nga KCCA era yakawera nga bw’etagenda kuggulawo kizimbe kya Haruna towers…
Eggwanga lya Zambia olwaleero lisabidde eyali omukulembeze waalyo Michael Sata
Ono yafa omwezi oguwedde ng’aweza emyaka 77
Nasiisi w’omuntu yeeyetabye mu kusaba mu kisaawe ky’abazira mu kibuga Lusaka
Sata eyamanyika ennyo olw’okuwandula ebigambo era nga baali bamukazaako erya King Combra yafuuka pulezidenti mu mwaka gwa 2011
Eggwanga lino kati liddukanyizibwa eyali omumyuka we ng’okulonda bwekutegekebwa mu mwezi gwa January
Ekitongole ekikola ku by’emutindo mu ggwanga kigguddewo kkampuni ya House of Eden ng’eno y’ekola eky’okunywa ekya SAFI
KKampuni eno yali yayimirizibwa okukola SAFi wa straw berry olw’ensonga nti ekimu ku birungo ebyaali bikozesebwa byaali bikyaamu
Akulira ekitongole kino Ben Manyindo agamba nti kampuni eno ekoze enkyukakyuka n’etandika okukozesa ebirungo ebituufu nga tewali nsonga lwaki esigala nzigale
Nga sizoni y’ensenene kyeggye etandike, abazitembeeya bandisanga obuzibu okukikolera ,mu kibuga
Abawerera ddala kkumi ababadde bazitambuliza mu kibuga olwaleero bagguddwaako rmisango ku kkooti ya Cityhall mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende
Emisango nabo tebabadde babi nebagikkiriza
Omulamuzi kati abalagidde buli omu okusasula engassi ya mitwalo 200,000 eeza buliwo nga ssinga balemererwa bakusibwa omwezi guno n’abalabula n’obutaddamu kukikola
Gavumenti esabiddwa okusooka okwetegereza ensonga y’okutondawo disitullikiti empya okulaba oba ddala zeetagisa
Ssabbiiti ewedde, ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku gavumenti z’ebitundu bawagidde eky’okukutulamu disitulikiti ye Wakiso, Kibaale, Kabale, Arua ne Kasese.
Kati akulira ekibiina ekigatta gavumenti z’ebitundu Fred Gume agamba nti disitulikiti empya zoolese okubeera omugugu kubanga n’ezasemba okukutulwaako tezikola bulungi.
Gume agamba nti eky’okutuusa empereeza y’omulembe…
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga benyamidde olw’ettemu erisusse mu kibuga
Kino kiddiridde okuttibwa kw’omusuubuzi Charles Lwanga abadde akakkalabiza egigye ku kizimbe kya mabirizi
Ababaka okubadde Kassiano Wadri, Alice Alaso, Ababiku Jessica ne Bayiga Lulume ettemu lino balitadde ku mundu eziyitiridde obungi mu banu
Bagaala gavumenti eyongere okukaliga natti ku ngeri y’okuwaamu abantu emmundu n’okulagira poliisi efulumye alipoota ku…