Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa abasuubuzi mu kikuubo nga bawakanya okuwa emisolo
Omulamuzi Lydia Mugambe abasabye okulinda ekinasalibwaawo kkooti mu musango omukulu.
Bano baali baasaba kkooti nti esooke ewere eby’okusasula emisolo eri ekibiina ekibakulira ekya Kikuubo business community limited okutuuka ng’okwemulugunya kwaabwe kuwuliddwa
Omulamuzi agambye nti n’okuyimiriza okuwa omusolo nga tewali nsawo ndala kibadde kyolese okukosa embeera y’obuyonjo…
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimirizza eby’okusengula abantu ababeera n’okukolera mu kisenyi
Bino bituukiddwaako mu Lukiiko wakati w’abakulembeze mu KCCA, amyuka omubaka wa pulezidenti mu kibuga ,Allan Kajik n’ababeera mu Kisenyi
Akulira abakozi ku ggombolola y’omukulu w’ekibuga Catherine Musingwire agambye nti bakusooka kumalawo kusika muguwa okuliwo ku ttaka lino nga tebannasengula bantu.
Wabula ono agambye nti bataddewo…
Uganda eweddemu ekirwadde kyaMarburg.
Minisita omubeezi akola ku byobulamu Sarah Opendi y'alangiridde bwati mu lukiiko lwa bannamawulire olukubiddwa ku kitebe kya gavumenti ekya Mawulire ekya Media center.
Opendi agambye nti obulwadde buno busobodde okubutaayiza era nga buwereddewo ddala
Obulwadde buno kyalangirirwa nti bulumbye eggwanga nga 4 omwezi gwa October oluvanyuma lw'omulwadde okufa mu ddwaliro e Mengo
Mu kaseera obulwadde buno…
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eriko omukazi ow’emyaka 40 gwekutte lwakuwa bantu 30 obutwa.
Dativa Nabatanzi omutuuze we Kagoggo y’awatiddwa lwakulunga bulukuumi mu mmere n’agiwa abalokole b’ekanisa ya Mukama Bwebutukirivu Bwaffe.
Wiiki ewedde abagoberezi 30 baddusibwa mu ddwaliro ly’e Masaka nga bali bubi oluvanyuma lw’okulya emmere erimu obutwa nga era poliisi ebadde ku muyiggo gw’omukyala…
Omuntu omu akubiddwa amasanyalaze agamuttiddewo e Namugongo
Omugenzi ategerekeseeko lya Kasozi omuzimbi.
Amasanyalaze gano kigambibwa okuba nga gayungibwa omukyala ategerekese nga Caroline Natukunda nga gali ku kikomera okuliraana ekinaabiro Kasozi mw’abadde anaabira
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti Natukunda akwatiddwa okunyonyola lwaki yassa amasanyalaze ku kikomera era nga tagajjaako
Ono agambye nti Natukunda wakuggulwaako misango…
Kizibu okusanga kkapa ewuga naye eno emenye likoda.
Kkapa eno ey’omwaka ogumu buli lw’ewubaala ng’ekka mu mazzi ekuba eddubi obutawukanako na mbaata
Kati nno waliwo kkampuni egitaddemu ensimbi ng’egikoledde ka jaketi akawuga nga Kalanga eddagala erissibwa mu mazzi g’okuwuga
Eddagala lino yadde likola ku mazzi ga mbwa naye ekyewunyisa nti kkapa y’egalanga era abalabye ku kkapa eno ng’ekuba…
Nasiisi w’omuntu akungaanidde ku Masiro ke Kasubi okwetaba mu mikolo gy’okutereka Omulangira David Wasajja Ssimbwa
Omulangira ono yasereera ssabbiiti ewedde
Akedde kusabirwa ku lutikko e Namirembe gy’ayogeddwaamu ngomusajja enjasa biggu
Omulangira wasajja y’abadde taata wa Kabaka Mutebi asigaddewo mu lubu lwa ssekabaka Chwa.
Omusajja eyewaddeyo okunonyereza ku mizimu ogyasenga mu nyumba okuva mu mwaka gwa 1912 yekyukidde neyefumita ebiso
Robert Laursen ow’emyaka 37 addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka
Enyumba eyogerwaako kigambibwa okuba nga yafiiramu abaana mukaaga n’abakulu 2 abakubwa obubazzi era nga yafuuka kyabulambuzi olw’ebigambibwa nti kati ya mizimu
Enyumba eno esangibwa mu Amerika teriimu yadde ekitangaala era nga poliisi…
Ekibiina ekikulembera omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga kyakulangirira abazanyi 30 abagenda okutendekebwa okwetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ku lwokutaano lwa week eno .
Abanaalondebwa okugenda mu Australia bakutandika okutendeka nga 18 omwezi gino
Omuwandiisi w’ekibiina kino mu ggwanga Annet Kisomose ategezezza nga okutendekebwa bwekugenda okubeera e Namboole era bagenda kutalaga n’ebitundu by’egwanga ebyenjawulo okutandika n’omwezi gwa January.
Kino…
Abayizi 47 beebafudde omutujju bweyebalusirizzaako bbomu mu kibuga kya Nigeria Potiskum
Bbomu eno ebalukidde ku ssomero ly’abalenzi erya sayansi era ng’omutujju agiteze abadde ayambadde ng’omuyizi
Ab’akabinja ka Bokoharam kiteberezebwa okuba nti beebakoze obulumbaganyi buno yadde nga tebannakikakasa