Waliwo ekiwayi ky’abagoba ba taxi abalumbye ekitebe kya KCCA wali ku City hall nga bawakanya okulonda kw’abakulembeze baabwe abaggya okutegekeddwa olunaku olwaleero wali e Nakivubo.
Kino kiddiridde olukungaana olwategekeddwa olunaku lw’eggulo wakati w’abavuzi ba Taxi ,poliisi ne minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga Muruuli Mukasa nebaKiriziganya okulonda kwabano kugende maaso.
Okulonda kuno kukontana n’okwategekeddwa mukyala Musisi nga 29 November nga…
Poliisi esambazze ebigambibwa nti erina enteekateeka z’okukwata eyali ssabaminista Amama Mbabazi
Kiddiridde amawulire okufuluma leero nga galaga nti gavumenti emalirizza enteekateeka z’okukwata Mbabazi nga byekuusa ku banka ye eya National Bank of Commerce
Enanga agamba nti nabo bafunye ebbaluwa okuva mu bannamateeka ba Mbabazi nga balaga nti banonyereza ku muntu waabwe kyokka nga ssi bweguli
Wabula Enanga agamba…
Abagambibwa okubeera abatujju abaakwatibwa okuva mu Kisenyi bagaaniddwa okweyimirirwa.
Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Moses Mukiibi owa kkooti enkulu ekola ku misango egikwata ku nsi yonna n’abasindika mu kkomera
Omulamuzi Mukiibi agambye nti bano emisango gyebaliko minene okubawa okweyimirirwa era nga okubayimbula kijja kuba kiteeka bannansi ku bunkenke
Agenze mu maaso n’ategeeza nti era okuyimbulwa kwa bano kuyinza…
Okukozesa abaana abato kyekimu ku bikyabalemesezza okusoma naddala mu bitundu by’ekyaalo
Okusinziira ku alipoota eyakolebwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abakozi mu nsi yonna, abaana obukadde bubiri abalina okubeera mu masomero basiiba ku mirimu egitali gimu omuli okuvuba, okulunda n’okulima
Kati ababaka ba palamenti nga bakulembeddwaamu Muwanga Kivumbi ne Sylvia Namabidde bagamba nti obwavu bwebusinze okuvaako kino ne basaba…
Minisitule ekola ku byobulambuzi eyagala abantu bakwatagane n’abakulembeze bw’ebitundu mu kulwanyisa abayigga ebisolo
Ng’ayogerera ku mikolo gy’okukubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka mu mbeera y’obudde
Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba agambye nti okuyigga ensolo kukyaali kungi ng’abantu batuuka ne mu makuumiro g’ebisolo
Kino agamba nti kisinze kuva ku kubeera nti ensalo za Uganda teziriiko birambe ng’abantu basala nebayigga ensolo olwo nebatunda…
Sipiika w’olukiiko lwa East African Margret Zziwa ategeezezza nga bw’atasobola kulekulira kifo kye wadde nga waliwo ababaka abazzeemu okubaga enteekateeka ez’okumujjamu obwesige.
Kino kiddiridde ababaka abamu ababadde mu lutuula e Rwanda okwemulugunya ku ngeri Zziwa gy’akolamu emirimu gye ng’abamu bamulumiriza okubasosola.
Wabula Zziwa agambye nti kati ataddewo akakiiko akagenda okunonyereza ku ngeri ababaka bano gyebeyisa naddala okuva…
Poliisi ku kyalo Jalamba mu disitulikiti ye Mpigi eriko abasomesa 2 beekute abakedde okulwanira mu maaso ng’abayizi ng’entabwe evudde ku musajja.
Abakwatiddwa kuliko Stella Nakyobe, akadde okulumbagana Agnes Nansereko , gwabade alumiriza okumwagalira omusajja olwo nebatanula okulwanagana.
Bano kati bagaliddwa ku poliisi ye Buwama nga bakuvunanibwa okufuuka ekyesitaza mu maaso g’abayizi.
Atwala poliisi ye Buwama Joseph Ayiki akakasiza…
Abamu ku basuubuzi mu katale ka St Balikudembe abawakanya obukulembeze bwa SLOA bevumbye akafubo n’abakungu okuva mu KCCA okuteme empenda ezokumalawo okulwanagana okugenda mu maaso mu katale kano.
Abasubuzi bano babadde bakulembeddwamu ssentebe wabwe Joseph Lwanga bategezeza KCCA ngabwebatulugunyizibwa ebitagambika ngabagyibwako empooza.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba akakasiza abasubuzi nga KCCA bweyawera empooza eno, kale ngatebasanidde…
Ng’amataba gakyatigomya abantu be Ntoroko, embeera yaabwe ey’ebyobulamu nayo yeralikiriza.
Mu magombolola 4 agali mu disitulikiti eno mulimu eddwaliro limu erya health centre 4 kyokka nga liri ku lusozi nga era bantu abasinga batindigga engendo empanvu okutuukayo.
Ekyeralikiriza kwekuba nga n’eddwaliro ly’enyini lyayingiddemu amazzi kale nga emirimu gisanyaladde.
Abantu abasoba mu mitwalo 3 beebakozesa eddwaliro lino.
Wadde nga gavumenti eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gw’ensiri, okunonyereza kulaga nti omusujja gukyayongera okubala bannayuganda embiriizi.
Omukugu mu by'obulmu okuva mu ddwaliro lya Princess Diana health center 4 mu disitulikiti ye Soroti Paul Ocmar agambye nti abalwadde ebitundu kyenda ku kikumi byebafuna
Ono agambye nti gavumenti erina okwongera amaanyi ku ngeri y'okwewalamu obulwadde buno.
Kigambibwa nti abantu…