Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

UNRA ejeemedde Kaliisoliiso ku luguudo lwe Katosi

Ekitongole ekikola ku byenguudo mu ggwanga kiziimudde ebyalagiddwa Kaliisoliiso okuyimiriza kkampuni y’aba China okukola oluguudo lwe Ktaosi Mukono Kaliisoliiso Irene Mulyagonja yalagidde nti kkampuni eno eya CICO eyimirizibwe era ereme kuddamu kuweeebwa mulimu gw akuzimba nguudo Wabula omwogezi w’ekitongole kya UNRA, Dan Alinange agamba nti bababadde tebasobola kugoberawo kkampuni eno kubanga kyakuleetawo eddibu Alinange agamba nti bakyakola ku…

Read More

Eby’amakomera biranze- babegaanye

Ensonga z’abakuumi mu makomera abatasaasulwa zikyalanda Olwaleero ab’amakomera bakomyeewo mu palamenti okunyonyola lwaki tebasasula bantu baabwe yadde nga tebagobwangako. Akulira amakomera  Johnson Byabashaija bino abiwakanyizza ng’agamba nti ssi kituufu era abantu bano tebabanja Aboogerwaako baali bakuumi e Kasese nga bali mu 250 nga bategeezezza  palamenti bagoobwa ku mirimu kyokka nebataweebwa bbaluwa zibagoba ate nga tebasasulwa musaala Byabashaija agamba bakunonyereza…

Read More

Afumbye omwana we

Poliisi ye Moroto etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo maama eyatokosezza omwanawe muntamu n’amutta ku kyalo  Nakapelimen . Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Moroto  John Omwony agamba baasindise dda basajja baabwe okuyigga kalittima ono akyaliira ku nsiko.   Poliisi yatuuse ewabadde enjego eno n’esanga nga  omulambo gw’omwana ono nga yenna eddiba kumpi tekuli oluvanyuma lw’okufumbibwa mu…

Read More

Omusajja amazeemua kagoba

Abayizi ku ssomero erimu mu Bungereza bakungaanye okwelorera ku musajja abadde yemala enyonta mu ngeri eyewunyisizza buli omu Omusajja ono abadde obute teri ategedde gy’avudde kyokka ng’olutuuse mu nimiro z’essomero lino n’agwa wansi n’atandika okwemalako enyonta Abayizi abangu bamukutte ku ssimu era kati ebifananyi bye bitunda nga keeki eyokya

Read More

teri kwogera ludica

Nanyini kafo akalirwaamu mu America afulumizza amateeka agawera abakozi be okukozesa ebigambi by’ekiyaaye Ono era aweze n’abakozesa olulimi lwebayita oluniga era ebigambo byonna n’abikuba ku lupappula lw’atimbye Mu ngeri yeemu ono aweze ebya bakozi abamala gakozesa ebigambo ebiboola abelian ekirwadde kya Ebola Kati manyi waliwo abagamba nti n’ebigambo ebimu biwerebwe wano, ssi byangu

Read More

Abadda mu za Wama mu bukyaamu baluguddemu

Abayimbi abaddamu ennyimba z’omugenzi Elly Wamala nga tebafunye lukusa bakukubwa mu mbuga z’amateeka. Lydia Wamala ngono yomu ku bawala bomugenzi agamba nti ennyimba za Wamala zirimu obubaka era zisomesa abantu nga n’okuziddamu okuziyimba awatali kuweebwa lukuusa  kiwebuula ekitiibwa ky’enyimba zino. Bo abayimbi 15 abakkirizibwa okuddamu okuyimba ennyimba zino bakusanyusa bannayuganda mu kivvulu ekitegekeddwa okujjukira nga bwegiweze emyaka…

Read More

ssibuli omu nti alina amazzi amayonjo

Bannayuganda abaweza ebitundu 36 ku kikumi beebatasobola kufuna mazzi mayonjo Kamisona akola ku kubunya amazzi amayonjo mu byaalo mu minisitule y’amazzi Joseph Eyatu agamba nti disitulikiti ezisinze okukosebwa kwekuli Kiruhura, Bugiri, Lyantonde, Ssembabule ne Karamoja. Eyatu agambye nti abantu mu bitundu bino batambula engendo empanvu ddala okufuna amazzi ate nga nago gaba majama Ono agamba nti ebintu okukyukamu…

Read More

Aba makomera babanja

Abaaliko abakuumi mu makomera okuva e Kasese beekubidde enduulu nga bagaala kusasulwa olw’okugobwa mu bukyaamu. Ba ofiisa bano abawerera ddala 40 olwaaleero bategeezezza ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’okwerinda nti baagobwa wakati w’omwaka 2007 ne 2008 naye nga tebafunye kiwandiiko kyonna. Bano nga bakulembeddwaamu Hassan Esungwa ne Sunday Muhindo bagamba nti buli Muntu agobwa alina okuweebwa…

Read More

Ebya Pioneer bikyaali bizibu

Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kigamba nti kyandiddamu okwetegereza endagaano gyekyakola ne kkampuni ya baasi eya Pioneer. Omwaka oguwedde, ekitongole kino kyadda omukono ku ndagaano ne pioneer egikkiriza okukola nga bw’esonda mpola ebbanja ely’obuwumbi 8. Akulira ekitongole kino Doris Akol agamba nti kkampuni eno eremereddwa okudda engulu nga tebakyalina ngeri yakuyamba Ono wabula tayogedde kiki kyebagaala okuzikolera

Read More

Gavumenti yakusasula ababulwako omwana

Kyaddaaki gavumenti ekkirizza okuliyirira abafumbo ababbibwaako omwana waabwe omulungo mu ddwaliro e Mulago mu mwaka gwa 2012 Omuwaabi wa gavumenti Ojambo Chikpi  y’ategeezezza bino bw’abadde mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe Ojambo agambye nti baliko webatuuse n’abafumbo bano Michael Mubangizi ne Jennifer Musimenta era nga kati bali mu kwebuuza ku muwi w’amagezi eri gavumenti ku…

Read More