Omuduumizi w’amaggye g’eggwanga era nga ye mukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akuzizza abasirikale 1,372 mu maggye g’eggwanga aga UPDF.
Abakuziddwa kuliko col Innocent Oula, Col George Igumba, Col Geofrey Kasigazi ne Col Tom Tumuhairwe nga bano bawereddwa eddala lya brigadier general.
Abalala kuliko ba colonel 36,ba Lieutenant Colonel 97,ba major 214,ba captain 629, ne ba second Lieutenant…
Abakungu mu kunonyereza mu ggwanga lya Mexico bagudde ku bisigala bya father muna uganda mu ntaana omwazikibwa abantu abasoba mu 43 omwezi oguwedde.
Father John Ssenyondo ng’enaku z’omwezi 30mu mwezi gwokuna omwaka guno okuva mu ssaza lye Guerrero, abantu abatategerekeba bwebayimiriza emotooka mweyali atambulira, olwo nebamuteeka mu motoka endala nebamubuzawo.
Abanonyereza ku bisigalira beyambisiza amanya nga Father…
Bannayuganda batandise okweyiwa mu kisaawe e Namboole okuberawo ng’abajulizi nga tiimu y’eggwanga eyambalagana ne tiimu ya Ghana.
Okusinzira ku mawulire agava mu nkabi abazanyi bona bali mu mbeera nungi era ngabalinze saawa bu saawa okuzanya Ghana ku saawa 10 ezakawungeezi.
Uganda bwewangula omupiira gwalero eba etangaziza emikisa gyayo egyokwetaba mu kikopo kya Africa cup of Nations ezinabeera…
Omukulembeze w’eggwanga lya Algeria Abdelaziz Bouteflika addusiddwa mu ggwanga lya Bufalansa ng’embeera ye yeralikiriza.
Bouteflika atemerera mu gyobukulu 77 addusiddwa mu ddwaliro mu kibuga Grenoble oluvanyuma lwokusanyalala.
Wabula abakulu mu government ya Algeria abagaanyi okunonyola ebisingawo kumbeera Bouteflika gyalimu.
Bouteflika yatandika okufuga eggwanga lya Algeria mu mwaka gwa 1999 wabula okuva mu mwezi gwokuna omwaka guno abadde talabika…
Ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa kironze eggwanga lya Equatorial Guinea okukyaza empaka za Africa Cup of Nations.
Empaka zino zaali zirina okutegekebwa eggwanga lya morocco, wabula olw’okutya ekirwadde kya Ebola Morocco yagaana okutegeka empaka zino.
Wano mu Uganda, tiimu y’eggwanga ekyagenda mu maaso n’okwetegekera omupiira n’eggwanga lya Ghana olunaku lw’enkya.
Yo tiimu ya Ghana yatuuse dda…
Omusajja asinga omuwanvu mu nsi yonna asisinkanye munne asinga obumpi mu nsi yonna omulundi ogusookedde ddala mu kibuga London
Sultan Kosen, alina ft munaana ne yinki ssatu agambye nti balina engeri nyingi gyebayinza okukwataganamu n’omumpi eno owa fiiti emu ne yinki mwenda yadde nga tebenkana
Kosen enzaalwa ya Turkey agambye nti balina ebizibu kyenkana byebimu mu bulamu
Omukyala enzaalwa ye Poland eyalangirira nti afudde azuukidde akaaba mpewo.
Janina ow’emyaka 91 amaze essaawa 11 mu ggwanika oluvanyuma lw’abasawo okukakasa nti afudde
Wabula ababadde mu ggwanika kibaweddeko okulaba omusajja ono ng’atandise okwekyuusa
Ababadde ewaka nga bali ku bibakuli bya buugi ne kabalagala kibaweddeko okulaba ng’omukyala ono bamukomezzaawo nga yenna akankana ayagala sweeta
Eby’okukwatibwa kwa Sam Mugumya nga ono ye Muyambi w’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye bikyalanda.
Bannakisinde kya 4GC balangiridde nga bwebagenda okwolekera eggwanga lya Congo mu kibuga Kinsasha ku lwokuna lwa sabbiiti ejja okulaba wa gy’akuumibwa oluvanyuma lw’okukwatibwa.
Okusinziira ku maggye ga UPDF, Mugumya yakwatibwa ku byekuusa ku bikolwa by’ekiyeekera sso nga yyo gavumenti ya Congo…
Poliisi ye Luweero Enoonya omuyimbi Sadat Mukiibi amanyidwa nga Kalifa Aganaga, nga ono avunanibwa kulya nsimbi zabategesi ba bivulu, kyokka n'atayimba.
Poliisi egamba Kalifa yalina okuyimba mu baala emu ku lunaku olwa Monday, era nga yaweebwa n’emitwalo 40, wabula teyalabikako ekyawalirizza abaali bazze okulaba okumenyamenya obutebe kko n’ebintu ebilala.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameka kigozi…
Ekibiina kya FUFA n’abaddukanya ekisaawe kye Namboole bakakasizza bannayuganda ku bukuumi nga Uganda ezannya Ghana ku lw’omukaaga
Atwala ebikwekweto bya poliisi Andrew Felix Kaweesi agambye nti bataddewo ba ofiisa munda n’ebweru w’ekisaawe okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna
ZZo Tiketi z’omupiira guno zatuuse dda ku katale nga osobola okuzisanga ku masundiro okuli Cityoil, Total, gapco Ben Kiwanuka, Shell…