Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ensonga z’omwana afiiridde ku KCCA zirinnye enkandaggo

Minisita wa kampala Frank Tumwebaze avuddemu omwaasi ku nsonga z’omwana ayalinnyiddwa emmotoka ku KCCA. Tumwebaze ategeezezza nga bw’alagidde aduumira poliisi Gen Kale Kaihura okunonyereza ku nsonga eno era aveeyo ne alipoota , enasinzirwako okubonereza abalagajjalidde emirimu. Ono agamba nti okukwasisa amateeka mu kibuga kikulu naye nga kirina okukolebwa mu ngeri ey’obuvunanyizibwa. Agenze mu maaso n’ategeeza nti  waliwo omuwaatwa…

Read More

Museveni akubidde cranes essimu-abagumiza okukuba Guinea

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta Museveni  akubidde enkambi ya Uganda Cranes essimu e Morocco era n’abazzamu amaanyi. pulezidenti  awadde  omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic ku bukodyo bw’okuwangula omupiira gwebagenda okuzannya n’eggwanga lya Guinea olunaku olwenkya era n'abawa amagezi  obutazanyira ku puleesa okusobola okumegga Guinea. Yye kapiteeni wa Cranes  Andy Mwesigwa ategezezza nga bwebagenda okufiirawo okumegga Guinea  okusobola okwesogga empaka za…

Read More

Kiggala alemedde ku poliisi ye Kayunga

  Poliisi mu disitulikiti ye  Kayunga etubidde n’omukazi kiggala ate nga kasiru. Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu w’abulijjo mu district y’e Kayunga Samuel Masolo anyonyodde  nga ono bweyasangiddwa  ng’alina omwana omuwere era kiteberezebwa okuba nga yasumagiridde mu Taxi n’emuyisa weyabadde alina okuviiramu. Ye addumira poliisi mu district y’e Kayunga Johnson Kiconco asabye abasajja obutavumbikiriza mukazi ono kumutikka mbuto ndala.

Read More

poliisi etabukidde aba 4AC

Wabaddewo akavuvungano nga poliisi eremesa bannakisinde kya 4GC okuyingira munda mu kitebe  ky’e ggwanga lya Congo e Kololo nga baagala okukwanga omubaka wa Congo kuno ekiwandiiko ekibanja okutangazibwa ku kukwatibwa kwa munna FDC Sam Mugumya. Bano bakulembeddwamu omukwanaganya w’ekisinde kino Mathias Mpuuga nga era kuliko n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye, omuloodi wa Kampala…

Read More

Buganda Twezimbe efunye ekibanja ku Yintaneti

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero atongozezza ekibanja kya Buganda Twezimbe ku mukutu gwa yintaneti oba gyiyitte Website. Bw’abadde atongoza  ekibanja kino owek. Mayiga agambye nti ekigenderererwa kwekwongera okumanyisa abantu ba Ssabasajja naddala ababeera emitala w’amayanja emirimu egikolebwa mu Buganda omuli n’okwekulakulanya. Owek. Mayiga era ayongedde okugumya obuganda ng’omulimu gw’okuzimba amasiro ge Kasubi wamu n’ekizimbe kya…

Read More

Babulidde mu misooli

Ekibinja ky’ab’oluganda ababadde balambula omusiri gwa kasooli mu America bayise poliisi lubaluba oluvanyuma lw’okubulira mu musiri Bano babadde balambula omusiri oguweza yiika 63 nga batandise okwebulako mpola okukkakkana nga basobeddwa Poliisi ekirungi etuuse mu budde n’ebakwataganya wakati mu ssanyu  

Read More

Cranes eri Morocco

Tiimu y’eggwanga eya Uganda cranes yatuuse dda mu kibuga Casbalanca ekya Morocco gy’egenda okukwataganira ne Guinea. Tiimu eno wetwogerera ng’etandise okutendeka  nga yetegekera omupiira guno ogugenda okubaawo olw’okuna Omupiira guno gwegugenda okusalawo oba Uganda eyitamu okwesogga eza Africa Cup of nations oba Nedda Uganda yakona okuyitamu okwetaba mu mpaka zino mu mwaka gwa 1970

Read More

Bannakenya beekalakaasiza

Abantu 200 beebakalaasirizza mu kibuga kya Nairobi ekikulu, Nairobi oluvanyuma lw’abasajja okubuukira omukazi nebamwambula nga bamulanga kwambala nkunamyo. Abeekalakaasa bano babadde bakutte ebipande ebivumirira ekikolwa kino era nga batadde ekimuli mu kifo awabadde ekikola kino Wabula bano babadde beekalakaasa nga n’ekibinja ky’abasajja 20 beekalakaasa nga bagamba nti abakyala bayige okwambala

Read More

abaana abatannatuuka- ensimbi zibulamu

Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi z’essa mu kukendeeza omuwendo gw’abaana abazaalibwa nga tebannatuuka Omukugu mu nsonga z’okuzaala mu kibiina kya SAVE The Children Uganda Patrick Aliganyera agamba nti amalwaliro mangi tegalina byuuma bikola ku baana ba kika kino omuli ebikuza abaana ekibaviirako okufa Aliganyera agamba nti n’abasawo abamanyi engeri y’okukwatamu abaana bano batono ddala nga bwebazaalibwa tebafiibwaako…

Read More