Poliisi e Entebbe ekutte abayizi 12 ab’ettendekero lya Nkumba lwakukulemberamu kwekalakaasa enkya ya leero.
Abayizi ku ttendekero lino bakedde kuva mu mbeera ng’obuzibu bwonna kuva ku kwongeza nsimbi za kuddamu bigezo omuyizi by’aba agudde okuva ku mitwalo 10 okudda ku 20 ate nga ssinga omuyizi asubwa ebigezo aasula emitwalo 10 okuva ku mitwalo 2.
Aduumira poliisi mu…
Abasuubuzi abakakkalabiza egyaabwe ku kizimbe kya Kalungi Plaza bavudde mu mbeera nebekalaakasa ng’obuzibu za bupangisa
Kiddiridde nannyini kizimbe kino Moses Kalungi okwongeza ez’obupangisa era ng’amaduuka gonna ag’abatannasasula agakubyeeko bakanyama
Kino kijje abasuubuzi mu mbeera nga beemulugunya ku kikoleddwa Kalungo.
Bagamba nti tebawereddwa kadde kwetegeka nga babagudeko bugwi nga kati basobeddwa
Wabula Kalungi tatawaanye kwezooba na bano, n’aggalawo ekizimbe ekirese…
Abasuubuzi wansi w’ekibiina kyaabwe ekya KACIITA bakwataganye ne poliisi okulwanyisa ba kondo ababamazeeko emirembe
Omwogezi w’ekibiina kino Isa Ssekito agamba nti kawefube ono bagenda kumutandika nga 19 omwezi guno nga balambula ebyafuuka empuku z’ababbi nga kuno kwekuli Kisenyi, Bwaise,Wandegeya ne Katanga.
Ogubatwalayo gwakusomesa bantu ku ngeri y’okulwanyisaamu obumenyi bw’amateeka.
Ssekito agamba nti ebibinja by’abazigu bano bikolera ku nguudo…
Abantu basatu okuva mu maka gamu bayiiriddwa Acid nga kati bali bubi mu ddwaliro e Mulago.
Omuntu atannaba kutegerekeka bano yeeyabayiiridde Acid nga bali mu motoka yaabwe
Mu bataawa kwekuli n’omwana owa wiiki emu.
Bazadde b’omwana ono bategerekese nga omwami n’omukyala Kakaire Kassimu abatuuze ku kyaalo Namavudduku luguudo lwe Gayaza.
Ababiri bano bafumbo era ng’egyaabwe bagikakkalabiza ku kontayina Village…
Waliwo omusawo akwatiddwa ng’abba eddagala lya gavumenti okuva mu ddwaliro lye Kawolo- Lugazi.
Akwatiddwa ye Hadijah Namutebi ng’asangiddwa ne paketi za Septrin, Coatem , amaganduula agambalwa abasawo abakomola abasajja abiri n’ebirala.
Byonna bibadde mu kalwaliro ke aka Mukisa Drug shop nga kasangibwa Namengo Lugazi mu disitulikiti ye Buikwe
Omukyala ono musawo mu ddwaliro lye Kawolo kyokka ng’abadde yawummula…
Abasawo abagaba eddagala ekyaamu n’okusigaza eddagala eriyiseeko mu masa byebimu ku bikosa abali mu mulimu gw’okutunda eddagala.
Ng’aggulawo omusomo gw’abali mu by’eddagala ,akola ku gw’okulondoola ebyobulamu n’engaba y’eddagala Dr Diana Atwine agambye nti abasawo bangi mu malwaliro ga gavumenti tebagaba ddagala ekiriviirako okuyitako.
Dr. Atwine agamba nti abasawo abamu era bagaba eddagala erisukka mu limu ate nga…
Abakola omulimu gw’okugula n’okutunda ettaka wamu n’amayumba basabye gavumenti okwanguya etteeka ku mulimu gwabwe eribadde mu palamenti kati emyaka 5 .
Ssentebe w’abasuubuzi bano Andrew Mukiibi agamba etteeka lino lyakubayamba okukwatagana ne gavumenti okusobozesa bamufuna mpola okwefunira amayumba mwebasula.
Etteeka lino ligendereddwamu kulaba nga omulimu guno gukulakulana nga era minisita w’ebyettaka Daudi Migereko akkaanya nebano nti singa…
Abakungu b’ekitongole ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi bali mu kattu lwakulemererwa kubalirira nsimbi eziri eyo mu bukadde 191.
Ensimbi zino zaali zakugula mafuta okuddabiriza ekibangirizi kyabannamakolero e Namanave.
Abakungu bano amakya galeero bwabadde balabiseeko maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka n’ebyobugagga bya gavumenti.
Mu kwewozaako akulira ekitongole kino boss, Frank Sebbowa ategezezza nga ensimbi zino bwezakozesebwa yinginiya ategerekese…
Ekiwendo ky’okukwata abaserikale ba poliisi ab’okunguudo abajja ensimbi ku bagoba b’ebidduka kyakanyweza 9.
Poliisi yatekewo ekibinja ky’abantu baayo abalondoola abatulafiki bano abagufudde omulimu okusaba ekyojja mumiro okuva eri badereeva naddala abo bebakwatira mu nsobi nga ate balina kubawa bibapupa okusasula engassi.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr.Steven Kasiima ategezezza nga bano bwebakwatiddwa okuva…
Supreme Mufti sheikh Zubair Kayongo alabudde abayisiraamu bonna okwewala okukolera emirimu gyabwe wabweru w’amateeka ga gavumenti.
Bino supreme Mufti y’abyogeredde Luweero mu kusabira omwoyo gw’omugenzi hajj abdul latif Bogere nga ono y’eeyali ssentebe w’abakulu b’amatwale mu disitulikiti eno.
Sheikh Kayongo y’ategezezza nga abamu ku bakulembeze bwebakola emirimu egikontana n’amateeka g’eggwanga nga besiga abakulu b’ebiwayi gy’ebava…