Waliwo banansi b’eggwanga lya China 45 abakwatiddwa lwakuyingira ggwanga mu bukyamu.
Bano bazingiddwako mu bitundu by’e Munyonyo gyebabadde bakolera kampuni ya Bettinga eya Lee and GAO united traders and Investments.
Amyuka omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda w’eggwanga Benjamin Katana agamba bano baakwatiddwa oluvanyuma lw’okutemezebwako poliisi.
Agamba baakutwaliba mu kkooti nga era abatalina biwandiiko bituufu baakuvunanibwa era batikibwe okudda…
Omutendesi wa Uganda Cranes Micho amaze okulangirira tiimu egenda okwambalagana ne Guinea mu mupiira gw’okufa n’okuwona eri Uganda.
Uganda yetaaga akabonero kamu okuyitawo oba okuwangula.
Mu bagenda okusooka ku kisaawe kwekuli Denis Onyango,Isaac Isinde, Godfrey Walusimbi,Savio Kabugo, Andy Mwesigwa, Baba Kizito,Kizito Luwaga, Tonny Mawejje, Farouk Miya, Brian Majwega, ne Godfrey Massa.
Omupiira guno gwakutandika ku ssaawa emu era…
Bazadde b’omwana eyafootoddwa ku KCCA olunaku lwajjo bagaanye okuziika omwana okutuuka nga baliyiriddwa.
Bino babituseeko mu kafubo kebabaddemu ne KCCA ku ofiisi zaabwe mu kampala
Kati bategereganye nti omulambo guno guddizibwe e Mulago okutuusa nga batuuse ku kukkaanya
Olukiiko luno lwetabiddwaamu maama w’omwana Madina Namutebi ne Kitaawe w’omwana
Katemba yetobese mu nnaku ab’enganda z’omwana eyatomeddwa ku cityhall bw’ezize ebintu…
Abatembeeyi abawerera ddala amakumi abiri gabamyuuse oluvanyuma lw’omulamuzi okukabatema nti bakusasula emitwalo 45 buli omu olw’ekutembeeyeza ebintu ku nguudo mu bukyaamu.
Bano nga bakulembeddwamu Barbara Zalwango basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza ku City Hall .
Balina okusasula ensimbi zino oba okusibwa emyezi mukaaga
Bano baakwatibwa okuva ku nguudo z’enjawulo mu Kampala wakati wa 17th and 19th omwezi …
Omukyala eyayiiriddwa acid ng’ali ne bba afudde
Rose Namuddu eyali ne bba n’omwana waabwe owa wiiki babalumbira ku luguudo lwa Northern Bypass nga bava mu kyaalo okutuuma omwana erinnya.
Yye bba Kassimu Kakaire iakyaali mu mbeera mbi nga bweguli ne ku mwana
Yyo poliisi yakakwata omuntu omu ku byekuusa ku bulumbaganyi buno
Omukyala ow’emyaka 21 eyakwatiddwa ku byekuusa ku kubba abaana basatu okuva ku ssomero lya City Parents School agguddwaako emisango n’asindikibwa e Luzira
Jamilah Nabatanzi agguddwaako emisango esatu nga gyekuusa ku kuwamba abantu bw’abadde mu maaso g’omulamuzi Morris Ezera Oburu.
Abaana abawambiddwa kuliko Rebecca Wamboka, Rachael Muduwa ne Marion Matenza.
Omulamuzi asindise omukyala ono e Luzira okutuuka nga 26…
Yunivasite ye Nkumba egaddwa ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’ennaku 3 nga abayizi bekalakaasa olw’ebisale bya fiizi okwonngezebwa.
Abakulira ettendekero lino baayongezza ensimbi z’okuddamu okutuula ebigezo okuva ku siringisi 100,ooo okutuuka ku 200,000 sso nga omuntu kati bwasubwa okukola olupapula lwonna asasula 100,000 okuva ku mitwalo 2.
Ssentebe w’olukiiko olutwala ettendekero lino Dr David Byatike Matovu ategezezza nga…
Omuyimbi Desire Luzinda kyaddaaki akoze sitatimenti ku poliisi
Luzinda atuuse ku poliisi ku ssaawa mukaaga ayiseewo butereevu okutuuka mu ofiisi w’omwogezi wa Poliisi gy’asisinkanye abalina okumusoya ebibuuzo okumala ebbanga
Mu sitatimenti Luzinda gy’akoze agusalidde muganzi we omu Nigeria gw’agamba nti yeeyafulumya ebifananyi bino nga naye teyakyagaala
Poliisi ebadde enoonya Desire okukola sitatimenti nga batuukako ne mu situdiyo za…
Kubamu akafananyi ng’obadde onywa akatunda ko , abasajja abampadde obukokoolo nebayingirawo nga tobamanyi ate mu kiro.
Manyi bangi bafukamira ate abalala banoonya awalala aw’okuddukira.
Ssi bwegubadde ku musajja enzaalwa ye Russia asigadde ng’anywa akatunda ke yadde alumbiddwa ka bakanyama 35
Omusajja ono abadde mu kafo akalirwaamu, banne bonna badduse kyokka yye asigadde yemiisa
Bangi batandise okubinawuuza nti omusajja ono…
Olwaleero lunaku lwa kabuyonjo mu nsi yonna.
Mu Uganda abantu obukadde 11 ku bantu obukadde 34 beebatasobola kufuna mazzi mayonjo
Okusinziira ku minisita akola ku mazzi n’obutonde bwensi Ephraim Kamuntu agamba nti kino kyekivuddeko n’endwadde ng’ekiddukano, ne Bilharzia n’omusujja gw’omubyenda guyite Taifoidi
Minisita agamba nti abakyala n’abaana beebasinze okukosebwa
Kamuntu abadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza enteekateeka enayamba abantu mu…