Dereeva eyasse omwana ku KCCA asimbiddwa mu kooti n’aggulwaako emisango gy’okuvugisa ekimama
Baguma Anuali alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Araali Muhirwa
Kigambibwa nti Baguma ku lunaku olw’okubiri nga tasoose kwetegereza kiki ekyaali emabega we yafotoola omwana eyali mu mipiira gy’emotoka awasimbwa emmotoka za KCCA.
Munnamateeka wa gavumenti Peter Mugisha agambye nti okunonyereza kuwedde nga…
Abalwanirira edembe ly’abakyala bagala government eyongere amaanyi mu kulwanyisa okutulugunya abakyala nga bwelwanyisa endwadde zinamuzisa ezirumba eggwanga.
Okusaba kuno kujidde mu kiseera nga uganda yetegekera okujukira ennaku 16 ezokulwanyisa obutabanguko mu maka.
Akulira emirimu mu kitongole kya Center for Domestic Violence Prevention Deus Kiwanuka agambye nti abakyala abangi batandise okukwatibwa eddwadde eziva ku kubatulugunya mu maka ekibaviriddeko…
Ababaka ba parliament bawadde endowooza ezenjawulo ku kalulu k’omubaka omukyala akikirira district ye Amuru akawanguddwa ab’oludda oluvuganya government.
Munna FDC Lucy Akello yawangudde n’obululu 7,420 ate muna NRM Frances Okilli Amongin nafuna obululu 6,701
Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi agambye nti kano kabonero akenkukunala akala nti government ya NRM eri mu lusuubo.
Wabula ye omubaka Emmanuel Eriaku agambye…
Mu mbeera etali yabulijjo, kalisoliso wa government omukyala Irene Mulyagonja okutte mu mbuga z’amateeka Ssabawolereza wa government Peter Nyombi anyonyole ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa Mukono- Katosi.
Bwabadde ayogera eri banamawulire Irene Mulyagonja agambye nti Peter Nyombi yalaga dda kyekubiira bweyasaba Kampuni yaba China engenda mu maaso ng’ezimba oluguudo luno newankubadde ngayali yenyigidde mu…
Mu ggwanga lya Buyindi, waliwo omwana azaaliddwa ng’alina embiriizi munaana
Omwana ono alina emikono ena, n’amagulu ana
Abantu batandise okwekulungulula okugenda okulaba ku mwana w’ekika kino abangi gwebagambye nti akakasa nti mu butuufu katonda atonda
Embeera eno kigambibwa okuba ng’eva ku balongo okwegattira mu lubuto nga batonda
Ababyanguya bagamba nti okuzaalibwa kw’omwana ono kabonero akalaga nti enkomerero etuuse
Akatambi akalaga bannamukadde basatu nga banywa enjaga mu bubba katunda nga keeki eyokya
Abantu abasoba mu bukadde 11 beebakalaba akatambi kano akakwatiddwa mu Washington ekya America.
Abakadde bano abasatu nga bonna bakyala balabwaakko nga bagabana omusokoto gw’enjaga nga bwebazannya ne matatu
Wabula oluvanyuma lw’eddakiika nga ttaano, abakadde bano balabika ng’enjaga ebakubye nga bamyuuse amaaso n’okuseka amajeemulukufu
Poliisi ku kyalo Kyabi mu disitulikiti ye Ssembabule ekutte omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe.
Omupakasi ono wa myaka 30 era asobezza ku wa myaka 10.
Kigambibwa nti ssedduvuutu ono y’alabiriza bazadde b’omwana nga tebaliiwo n’amweganzikako.
Bazadde b’omwana ono okulabuka basoose kulaba mwanawaabwe nga alumizibwa bw’aba atambula kwekumubuuza ogwabadde n’akabatema nti omupakasi yamutunuza mu mbuga ya sitani.
Kino kyajje…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye banna NRM abaagala okwesimbawo mu bitundu bye Serere obuttakiriza bavuganya gavumenti kubawangula.
Museveni etegezezza abatuuze nga ab’oludda oluvuganya gavumenti omuli n’omubaka waabwe omukyala Alice Alaso bwebakunganya obukunganya ensimbi nga mu palamenti mpaawo kyebayinza kubayamba.
Museveni ategezezza nga ab'eserere bwebalimbibwa abavuganya bano kale nga kati ky'ekiseera okubasibira ekikokolo baleme kuddamu kubakombya ku…
Enkuba ekedde okutonnya amakya galeero erese abantu 2 bafu.
Bano bagudde mu myala egibooze oluvanyuma lw’enkuba okutonya nga engobe mu ggulu.
Abafudde kuliko ategerekese nga Nakato omutuuze we Nabweru ssaako n’omulala ow’emyaka 15 naye ategerekeseko erya Faizal nga ono yye mutuuze wa Kyebando Central Zone.
Aduumira poliisi ye Kawempe Patrick Alinyo ategezezza nga omulambo gwa Nakato bwegutanazulibwa wabula…
Ebyakava mu kubala obululu e Amuru biraga nti Munna NRM Jane Francus Amongin y’aleebya banne bwebali mu lwokaano
Mu gombola ye Atiak, Amongin afunye obululu 1,500 ate ow’abavuganya nga wa FDC Lucy Akello afunye obululu 1,036
Mu gombolola ye Lamogi, mu muluka gwe Jimo, Amongin afunye obululu 79, ate Akello afunye 85, e Parabongo, Amongin afunye obubonero…