Olukiiko wakati wa KCCA ne bazadde b’omwana eyatomerwa n’afa terugenze mu maaso olwaleero.
Maama w’omwana ono Ryan Semaganda nga ye Madina Namutebi agamba nti babadde balina okusisinkana KCCA olwaleero kyokka nebategeezebwa nti balina olukiiko olw’amangu lwebagendamu.
Bano nno baliko endagaano gyebaakola ne KCCA okulaba nti ebaliyirira olw’amwana waabwe eyafiira mu kavuyo.
Namutebi agamba nti kati balinze KCCA ebawe…
Eyaliko senkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ayagala akulira ekitebe ky’amawulire ekya gavumenti Ofwono Opondo akwatibwe
Obuzibu bwonna buva ku bigambo bya Opondo nti abavuganya bangi beetaba mu bikolwa by’ekiyekeera.
Opondo ono yagambye nti omuyambi wa Dr Kiiza Besigye Sam Mugumya yabakaksizza nti abavuganya bangi okuli n’ababaka ba palamenti beetaba mu bikolwa by’ekiyekeera
Besigye agamba nti Opondo…
Abantu abasoba mu 500 mu disitulikiti ye Lwengo bajjanjabiddwa mu nkambi y’ebyobulamu ekubiddwa mu nkambi y’amaggye e Kasajjagirwa
Mu nkambi eno ebadde ku kisaawe e Kyazanga, abantu bakebereddwa n’okujjanjaba endwadde ezitali zimu ng’omusujja gw’ensiri, senyiga, emitwe, ebifuba, kko n’ekusomesa abakyala n’abaami kun kola z’ekizaala ggumba.
Omwogezi w’enkambi ye Kasajjagirwa Lt. Col. Lwemijuma Ninsiima,agamba nti basinze kutunuulira abantu…
Kizuuliddwa nti kyangu nnyo abakyala abali mu bifo by’obuyinza okulaga obubonero bw’okunyigirizibwa emirimu gyebakola ate okusingako ku basajja
Mu basajja, kigambibwa okuba nti eky’okubeera n’obuyinza okugoba oba okuwandiisa abakozi abapya kibayamba okukendeeza ku birowoozo ate ekitali ku bakazi.
Eri abakyala, buli lw’agoba omukozi oba okuwandiisa omupya,asigala n’ebirowooza.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bakyala n’abasajja 2800
Abakoze okunonyereza kuno bagamba nti…
Gavumenti ya Uganda ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakusalawo kusindika basawo 250 mu ggwanga lya Trinidad and Tobago.
Ettendekero erikola ku by’okunonyereza lyeriwaabye gavumenti nga ligamba nti kyenyamiza okulaba nti wakati mu bbula ly’abasawo mu ggwanga, ate abatono abaliwo gavumenti ekkirizza okubasindika ebweru
Atwala emirimu gya bannakyeewa mu ttendekero lino Raymond Mwesiga aha,agamba nti n’eggwanga lya Trinidad and…
Okuwulira omusango gw’omuserikale wa poliisi agambibwa okusomola ebyama bya mukamawe era ssenkagale wa Poliisi Gen Kale Kayihura kugudde butaka.
Omusango guno gubadde gulina okuddamu okuwulirwa oluvanyuma lwa kkooti enkulu okulagira guwulirwe nga bannamawulire bakwaata buli kigenda mu maaso.
Waliwo ekibinja ky’abannamawulire abekubira enduulu mu palamenti nga bawakanya okugobwa mu kkooti nga Ronald Poteri avunanibwa era byobba ebyasooka…
Abalima mu bimuli bya KCCA bassizza wansi ebikola.
Bano nga bali eyo mu 200 okuva mu division 5 wano mu kampala bagumbye ku kitebe kya KCCA basisinkanemu bekikwatako ku nsonga eno.
Abamu ku bano abataagadde kwatukirizibwa mannya bategezezza nga bwebakamala emyezi 2 nga tebalaba ku musaala nga era abakulembeze baabwe bakyaali mu kafubo n’aba KCCA.
Wabula yye omwogezi…
Abagoba ba Taxi bakedde kudda ku paaka ya clock tower yadde nga KCCA yabafumuula
Aba Taxi bano bazze benaanise obujoozi bwa kyenvu obwa NRM nga bagamba nti pulezidenti y’asinga obuyinza era yabakkirizza okudda
YYe omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti tebannabakkiriza kukola
Poliisi enyonyoddeko ku by’okukyuusa emisango egivunaanibwa omukozi eyalabikidde mu katambi ng'atulugunya omwana wa mukamawe ow’omwaka ogumu.
Jolly Tumuhirwe y’asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku misango gy’okutulugunya wansi w’etteeka ly’okutulugunya wabula nga kati poliisi ezzeemu okwetegereza okulaba nga aggulwako emisango emirala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti bwebazzemu okwekeneneya akatambi, baakizudde nga yaaya ono y’abadde…
Abantu 11 beebafudde ekiziyiro mu kanyigo akabadde mu kusaba okutegekeddwa mu kisaawe mu ggwanga lya Zimbabwe
Abantu bana beebafiiriddewo ate omusanvu nebafiira mu ddwaliro
Abafudde beebamu ku babadde bafuluma ekisaawe oluvanyuma lw’omusumba w’erinnya Walter Magaya okumaliriza okuliisa abantu ekigambo.
BBo nno abeerabiddeko n’agaabwe bafusalidde poliisi egadde emiryangoe gisinga n’okukuba omukka ogubalagala mu bantu ng’akavuyo katandise